< Isaaya 2 >

1 Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
הדבר אשר חזה ישעיהו בן אמוץ על יהודה וירושלם
2 Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira, luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna, era amawanga gonna galilwolekera.
והיה באחרית הימים נכון יהיה הר בית יהוה בראש ההרים ונשא מגבעות ונהרו אליו כל הגוים
3 Abantu bangi balijja bagambe nti, Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, alyoke atuyigirize amakubo ge, tulyoke tutambulire mu mateeka ge. Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni, era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
והלכו עמים רבים ואמרו לכו ונעלה אל הר יהוה אל בית אלהי יעקב וירנו מדרכיו ונלכה בארחתיו כי מציון תצא תורה ודבר יהוה מירושלם
4 Alisala enkaayana z’amawanga, aliramula emisango gy’abantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
ושפט בין הגוים והוכיח לעמים רבים וכתתו חרבותם לאתים וחניתותיהם למזמרות--לא ישא גוי אל גוי חרב ולא ילמדו עוד מלחמה
5 Ggwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
בית יעקב--לכו ונלכה באור יהוה
6 Wayabulira abantu bo ab’ennyumba ya Yakobo, kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti, era basizza kimu ne bannamawanga.
כי נטשתה עמך בית יעקב--כי מלאו מקדם ועננים כפלשתים ובילדי נכרים ישפיקו
7 Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu, n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo: ensi yaabwe ejjudde embalaasi, era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
ותמלא ארצו כסף וזהב ואין קצה לאצרתיו ותמלא ארצו סוסים ואין קצה למרכבתיו
8 Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, engalo zaabwe gwe zeekolera.
ותמלא ארצו אלילים למעשה ידיו ישתחוו לאשר עשו אצבעתיו
9 Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa, omuntu wa kussibwa wansi. Mukama, tobasonyiwa!
וישח אדם וישפל איש ואל תשא להם
10 Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
בוא בצור והטמן בעפר מפני פחד יהוה ומהדר גאנו
11 Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu n’amalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
עיני גבהות אדם שפל ושח רום אנשים ונשגב יהוה לבדו ביום ההוא
12 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese eri abo bonna ab’amalala era abeewanise, eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde okwemanya n’okwewulira.
כי יום ליהוה צבאות על כל גאה--ורם ועל כל נשא ושפל
13 Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni, emiwanvu emigulumivu, n’emivule gyonna egya Basani.
ועל כל ארזי הלבנון הרמים והנשאים ועל כל אלוני הבשן
14 Era n’ensozi zonna empanvu, n’obusozi bwonna obugulumivu.
ועל כל ההרים הרמים ועל כל הגבעות הנשאות
15 Na buli mulongooti gwonna omuwanvu, na buli bbugwe gwe bakomese.
ועל כל מגדל גבה ועל כל חומה בצורה
16 Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi, n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
ועל כל אניות תרשיש ועל כל שכיות החמדה
17 Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka, n’amalala g’abantu galissibwa; era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
ושח גבהות האדם ושפל רום אנשים ונשגב יהוה לבדו ביום ההוא
18 N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
והאלילים כליל יחלף
19 Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
ובאו במערות צרים ובמחלות עפר--מפני פחד יהוה ומהדר גאונו בקומו לערץ הארץ
20 Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
ביום ההוא ישליך האדם את אלילי כספו ואת אלילי זהבו--אשר עשו לו להשתחות לחפר פרות ולעטלפים
21 Balidduka ne beekukuma mu mpuku ez’amayinja amaatifu nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.
לבוא בנקרות הצרים ובסעפי הסלעים--מפני פחד יהוה ומהדר גאונו בקומו לערץ הארץ
22 Mulekeraawo okwesiga omuntu alina omukka obukka mu nnyindo ze. Kiki ennyo kyali?
חדלו לכם מן האדם אשר נשמה באפו כי במה נחשב הוא

< Isaaya 2 >