< Isaaya 19 >

1 Obunnabbi obukwata ku Misiri: Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo ajja mu Misiri. Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge, n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
משא מצרים הנה יהוה רכב על עב קל ובא מצרים ונעו אלילי מצרים מפניו ולבב מצרים ימס בקרבו׃
2 Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri, balwane buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n’ekibuga, obwakabaka n’obwakabaka.
וסכסכתי מצרים במצרים ונלחמו איש באחיו ואיש ברעהו עיר בעיר ממלכה בממלכה׃
3 Abamisiri baliggwaamu omwoyo era entegeka zaabwe zonna ndizitta; era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize, n’abaliko emizimu n’abalogo.
ונבקה רוח מצרים בקרבו ועצתו אבלע ודרשו אל האלילים ואל האטים ואל האבות ואל הידענים׃
4 Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw’omufuzi omukambwe, era kabaka ow’entiisa alibafuga, bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
וסכרתי את מצרים ביד אדנים קשה ומלך עז ימשל בם נאם האדון יהוה צבאות׃
5 Omugga gulikalira n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
ונשתו מים מהים ונהר יחרב ויבש׃
6 N’emikutu giriwunya ekivundu, n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale; ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
והאזניחו נהרות דללו וחרבו יארי מצור קנה וסוף קמלו׃
7 Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
ערות על יאור על פי יאור וכל מזרע יאור ייבש נדף ואיננו׃
8 Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga, n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
ואנו הדיגים ואבלו כל משליכי ביאור חכה ופרשי מכמרת על פני מים אמללו׃
9 Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa, n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
ובשו עבדי פשתים שריקות וארגים חורי׃
10 Abakozi balikwatibwa ennaku, bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
והיו שתתיה מדכאים כל עשי שכר אגמי נפש׃
11 Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala, n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. Mugamba mutya Falaawo nti, “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
אך אולים שרי צען חכמי יעצי פרעה עצה נבערה איך תאמרו אל פרעה בן חכמים אני בן מלכי קדם׃
12 Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa? Leka bakubuulire bakutegeeze Mukama Katonda ow’Eggye ky’ategese okutuusa ku Misiri.
אים אפוא חכמיך ויגידו נא לך וידעו מה יעץ יהוה צבאות על מצרים׃
13 Abakungu ab’e Zowani basiriwadde, abakungu ab’e Noofu balimbiddwa, abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga bakyamizza Misiri.
נואלו שרי צען נשאו שרי נף התעו את מצרים פנת שבטיה׃
14 Mukama abataddemu omwoyo omubambaavu era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola, ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
יהוה מסך בקרבה רוח עועים והתעו את מצרים בכל מעשהו כהתעות שכור בקיאו׃
15 Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa, agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
ולא יהיה למצרים מעשה אשר יעשה ראש וזנב כפה ואגמון׃
16 Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali.
ביום ההוא יהיה מצרים כנשים וחרד ופחד מפני תנופת יד יהוה צבאות אשר הוא מניף עליו׃
17 N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
והיתה אדמת יהודה למצרים לחגא כל אשר יזכיר אתה אליו יפחד מפני עצת יהוה צבאות אשר הוא יועץ עליו׃
18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira.
ביום ההוא יהיו חמש ערים בארץ מצרים מדברות שפת כנען ונשבעות ליהוה צבאות עיר ההרס יאמר לאחת׃
19 Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo.
ביום ההוא יהיה מזבח ליהוה בתוך ארץ מצרים ומצבה אצל גבולה ליהוה׃
20 Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola.
והיה לאות ולעד ליהוה צבאות בארץ מצרים כי יצעקו אל יהוה מפני לחצים וישלח להם מושיע ורב והצילם׃
21 Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza.
ונודע יהוה למצרים וידעו מצרים את יהוה ביום ההוא ועבדו זבח ומנחה ונדרו נדר ליהוה ושלמו׃
22 Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
ונגף יהוה את מצרים נגף ורפוא ושבו עד יהוה ונעתר להם ורפאם׃
23 Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli.
ביום ההוא תהיה מסלה ממצרים אשורה ובא אשור במצרים ומצרים באשור ועבדו מצרים את אשור׃
24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa.
ביום ההוא יהיה ישראל שלישיה למצרים ולאשור ברכה בקרב הארץ׃
25 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
אשר ברכו יהוה צבאות לאמר ברוך עמי מצרים ומעשה ידי אשור ונחלתי ישראל׃

< Isaaya 19 >