< Isaaya 18 >

1 Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w’emigga gya Kuusi,
הוי ארץ צלצל כנפים אשר מעבר לנהרי כוש׃
2 etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
השלח בים צירים ובכלי גמא על פני מים לכו מלאכים קלים אל גוי ממשך ומורט אל עם נורא מן הוא והלאה גוי קו קו ומבוסה אשר בזאו נהרים ארצו׃
3 Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
כל ישבי תבל ושכני ארץ כנשא נס הרים תראו וכתקע שופר תשמעו׃
4 Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ng’olubugumu olutemagana mu musana, ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
כי כה אמר יהוה אלי אשקוטה ואביטה במכוני כחם צח עלי אור כעב טל בחם קציר׃
5 Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, n’amatabi agalanda aligasalira.
כי לפני קציר כתם פרח ובסר גמל יהיה נצה וכרת הזלזלים במזמרות ואת הנטישות הסיר התז׃
6 Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu n’ensolo ez’ensi. Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya, n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
יעזבו יחדו לעיט הרים ולבהמת הארץ וקץ עליו העיט וכל בהמת הארץ עליו תחרף׃
7 Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, ensi ey’eryanyi, eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
בעת ההיא יובל שי ליהוה צבאות עם ממשך ומורט ומעם נורא מן הוא והלאה גוי קו קו ומבוסה אשר בזאו נהרים ארצו אל מקום שם יהוה צבאות הר ציון׃

< Isaaya 18 >