< Isaaya 17 >
1 “Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.
2 Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.
3 Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4 “Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.
5 Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, n’omukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6 Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
7 Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8 So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera, oba empagi za katonda wa Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9 Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10 Weerabidde Katonda Omulokozi wo, so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12 Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi, bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse! Okuwuluguma kw’abantu, bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.