< Isaaya 16 >
1 “Muweereze abaana b’endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2 Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu awasomokerwa Alunooni.
3 “Tuwe ku magezi, tubuulire, tukole tutya? Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze wakati mu ttuntu, Abajja bagobebwa mubakweke, abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4 Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” Omujoozi bw’aweddewo, n’okubetentebwa ne kuggwaawo; omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5 Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6 Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga bw’ajjudde okwemanya, n’amalala ge n’okuvuma; naye okwemanya kwe tekugasa.
7 Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. Mukungubage, musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8 Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala emiti gyabwe egyasinganga obulungi, egyabunanga ne gituuka e Yazeri nga giggukira mu ddungu n’emitunsi nga gibuna nga gituukira ddala mu nnyanja.
9 Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma. Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange, ggwe Kesuboni ne Ereyale: kubanga essanyu ery’ebibala byo n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala; ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana; mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo; okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu, alyekooya yekka; bw’aligenda okusamira, tekirimuyamba.
13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.
14 Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”