< Isaaya 15 >

1 Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa ne kimalibwawo. Kiiri ekya Mowaabu nakyo ne kizikirizibwa mu kiro!
מַשָּׂ֖א מוֹאָ֑ב כִּ֠י בְּלֵ֞יל שֻׁדַּ֨ד עָ֤ר מוֹאָב֙ נִדְמָ֔ה כִּ֗י בְּלֵ֛יל שֻׁדַּ֥ד קִיר־מוֹאָ֖ב נִדְמָֽה׃
2 Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi okukaabira mu ssabo lyabwe. Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
עָלָ֨ה הַבַּ֧יִת וְדִיבֹ֛ן הַבָּמ֖וֹת לְבֶ֑כִי עַל־נְב֞וֹ וְעַ֤ל מֵֽידְבָא֙ מוֹאָ֣ב יְיֵלִ֔יל בְּכָל־רֹאשָׁ֣יו קָרְחָ֔ה כָּל־זָקָ֖ן גְּרוּעָֽה׃
3 Beesibye ebibukutu mu nguudo; ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba. Buli muntu atema emiranga n’abikaabira amaziga amayitirivu.
בְּחוּצֹתָ֖יו חָ֣גְרוּ שָׂ֑ק עַ֣ל גַּגּוֹתֶ֧יהָ וּבִרְחֹבֹתֶ֛יהָ כֻּלֹּ֥ה יְיֵלִ֖יל יֹרֵ֥ד בַּבֶּֽכִי׃
4 Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
וַתִּזְעַ֤ק חֶשְׁבּוֹן֙ וְאֶלְעָלֵ֔ה עַד־יַ֖הַץ נִשְׁמַ֣ע קוֹלָ֑ם עַל־כֵּ֗ן חֲלֻצֵ֤י מוֹאָב֙ יָרִ֔יעוּ נַפְשׁ֖וֹ יָ֥רְעָה לּֽוֹ׃
5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali ne Yegulasuserisiya. Bambuka e Lakisi nga bwe bakaaba; bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
לִבִּי֙ לְמוֹאָ֣ב יִזְעָ֔ק בְּרִיחֶ֕הָ עַד־צֹ֖עַר עֶגְלַ֣ת שְׁלִשִׁיָּ֑ה כִּ֣י ׀ מַעֲלֵ֣ה הַלּוּחִ֗ית בִּבְכִי֙ יַֽעֲלֶה־בּ֔וֹ כִּ֚י דֶּ֣רֶךְ חוֹרֹנַ֔יִם זַעֲקַת־שֶׁ֖בֶר יְעֹעֵֽרוּ׃
6 Amazzi g’e Nimulimu gakalidde, omuddo guwotose, omuddo omugonvu, guggwaawo, tewali kintu kimera.
כִּֽי־מֵ֥י נִמְרִ֖ים מְשַׁמּ֣וֹת יִֽהְי֑וּ כִּֽי־יָבֵ֤שׁ חָצִיר֙ כָּ֣לָה דֶ֔שֶׁא יֶ֖רֶק לֹ֥א הָיָֽה׃
7 Abantu basomoka akagga ak’enzingu nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
עַל־כֵּ֖ן יִתְרָ֣ה עָשָׂ֑ה וּפְקֻדָּתָ֔ם עַ֛ל נַ֥חַל הָעֲרָבִ֖ים יִשָּׂאֽוּם׃
8 Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu; amaloboozi gatuuse e Yegalayimu, n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
כִּֽי־הִקִּ֥יפָה הַזְּעָקָ֖ה אֶת־גְּב֣וּל מוֹאָ֑ב עַד־אֶגְלַ֙יִם֙ יִלְלָתָ֔הּ וּבְאֵ֥ר אֵילִ֖ים יִלְלָתָֽהּ׃
9 Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi, naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, ne ku abo abalisigalawo ku nsi.
כִּ֣י מֵ֤י דִימוֹן֙ מָ֣לְאוּ דָ֔ם כִּֽי־אָשִׁ֥ית עַל־דִּימ֖וֹן נוֹסָפ֑וֹת לִפְלֵיטַ֤ת מוֹאָב֙ אַרְיֵ֔ה וְלִשְׁאֵרִ֖ית אֲדָמָֽה׃

< Isaaya 15 >