< Isaaya 14 >

1 Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe. Ne bannamawanga balibeegattako era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
כִּי יְרַחֵם יְהוָה אֶֽת־יַעֲקֹב וּבָחַר עוֹד בְּיִשְׂרָאֵל וְהִנִּיחָם עַל־אַדְמָתָם וְנִלְוָה הַגֵּר עֲלֵיהֶם וְנִסְפְּחוּ עַל־בֵּית יַעֲקֹֽב׃
2 N’amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi. Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo abaabakijjanyanga.
וּלְקָחוּם עַמִּים וֶהֱבִיאוּם אֶל־מְקוֹמָם וְהִֽתְנַחֲלוּם בֵּֽית־יִשְׂרָאֵל עַל אַדְמַת יְהוָה לַעֲבָדִים וְלִשְׁפָחוֹת וְהָיוּ שֹׁבִים לְשֹֽׁבֵיהֶם וְרָדוּ בְּנֹגְשֵׂיהֶֽם׃
3 Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
וְהָיָה בְּיוֹם הָנִיחַ יְהוָה לְךָ מֵֽעָצְבְּךָ וּמֵרָגְזֶךָ וּמִן־הָעֲבֹדָה הַקָּשָׁה אֲשֶׁר עֻבַּד־בָּֽךְ׃
4 oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
וְנָשָׂאתָ הַמָּשָׁל הַזֶּה עַל־מֶלֶךְ בָּבֶל וְאָמָרְתָּ אֵיךְ שָׁבַת נֹגֵשׂ שָׁבְתָה מַדְהֵבָֽה׃
5 Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi, omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
שָׁבַר יְהוָה מַטֵּה רְשָׁעִים שֵׁבֶט מֹשְׁלִֽים׃
6 Ogwakubanga olutata amawanga n’obusungu, ogwafugisanga amawanga ekiruyi, ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
מַכֶּה עַמִּים בְּעֶבְרָה מַכַּת בִּלְתִּי סָרָה רֹדֶה בָאַף גּוֹיִם מֻרְדָּף בְּלִי חָשָֽׂךְ׃
7 Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, era batandise okuyimba.
נָחָה שָׁקְטָה כָּל־הָאָרֶץ פָּצְחוּ רִנָּֽה׃
8 Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni, nagyo gikuyeeyeereza nti, “Kasookanga ogwa tebangayo ajja kututema.”
גַּם־בְּרוֹשִׁים שָׂמְחוּ לְךָ אַרְזֵי לְבָנוֹן מֵאָז שָׁכַבְתָּ לֹֽא־יַעֲלֶה הַכֹּרֵת עָלֵֽינוּ׃
9 Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja, gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze b’ensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga. (Sheol h7585)
שְׁאוֹל מִתַּחַת רָגְזָה לְךָ לִקְרַאת בּוֹאֶךָ עוֹרֵר לְךָ רְפָאִים כָּל־עַתּוּדֵי אָרֶץ הֵקִים מִכִּסְאוֹתָם כֹּל מַלְכֵי גוֹיִֽם׃ (Sheol h7585)
10 Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”
כֻּלָּם יַֽעֲנוּ וְיֹאמְרוּ אֵלֶיךָ גַּם־אַתָּה חֻלֵּיתָ כָמוֹנוּ אֵלֵינוּ נִמְשָֽׁלְתָּ׃
11 Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu n’amaloboozi g’ennanga zo; bakwalidde envunyu, n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko. (Sheol h7585)
הוּרַד שְׁאוֹל גְּאוֹנֶךָ הֶמְיַת נְבָלֶיךָ תַּחְתֶּיךָ יֻצַּע רִמָּה וּמְכַסֶּיךָ תּוֹלֵעָֽה׃ (Sheol h7585)
12 Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
אֵיךְ נָפַלְתָּ מִשָּׁמַיִם הֵילֵל בֶּן־שָׁחַר נִגְדַּעְתָּ לָאָרֶץ חוֹלֵשׁ עַל־גּוֹיִֽם׃
13 Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
וְאַתָּה אָמַרְתָּ בִֽלְבָבְךָ הַשָּׁמַיִם אֶֽעֱלֶה מִמַּעַל לְכֽוֹכְבֵי־אֵל אָרִים כִּסְאִי וְאֵשֵׁב בְּהַר־מוֹעֵד בְּיַרְכְּתֵי צָפֽוֹן׃
14 ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
אֶעֱלֶה עַל־בָּמֳתֵי עָב אֶדַּמֶּה לְעֶלְיֽוֹן׃
15 Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo y’obunnya. (Sheol h7585)
אַךְ אֶל־שְׁאוֹל תּוּרָד אֶל־יַרְכְּתֵי־בֽוֹר׃ (Sheol h7585)
16 Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
רֹאֶיךָ אֵלֶיךָ יַשְׁגִּיחוּ אֵלֶיךָ יִתְבּוֹנָנוּ הֲזֶה הָאִישׁ מַרְגִּיז הָאָרֶץ מַרְעִישׁ מַמְלָכֽוֹת׃
17 Eyafuula ensi okuba eddungu n’asuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
שָׂם תֵּבֵל כַּמִּדְבָּר וְעָרָיו הָרָס אֲסִירָיו לֹא־פָתַח בָּֽיְתָה׃
18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa, buli omu mu ntaana ye,
כָּל־מַלְכֵי גוֹיִם כֻּלָּם שָׁכְבוּ בְכָבוֹד אִישׁ בְּבֵיתֽוֹ׃
19 naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa, ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala, abakka eri amayinja g’obunnya; ng’omulambo ogulinyiriddwa.
וְאַתָּה הָשְׁלַכְתָּ מִֽקִּבְרְךָ כְּנֵצֶר נִתְעָב לְבוּשׁ הֲרֻגִים מְטֹעֲנֵי חָרֶב יוֹרְדֵי אֶל־אַבְנֵי־בוֹר כְּפֶגֶר מוּבָֽס׃
20 Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo; ezzadde ly’abo abaakola ebibi teriryongerwako n’akatono.
לֹֽא־תֵחַד אִתָּם בִּקְבוּרָה כִּֽי־אַרְצְךָ שִׁחַתָּ עַמְּךָ הָרָגְתָּ לֹֽא־יִקָּרֵא לְעוֹלָם זֶרַע מְרֵעִֽים׃
21 Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe, baleme okugolokoka ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
הָכִינוּ לְבָנָיו מַטְבֵּחַ בַּעֲוֺן אֲבוֹתָם בַּל־יָקֻמוּ וְיָרְשׁוּ אָרֶץ וּמָלְאוּ פְנֵֽי־תֵבֵל עָרִֽים׃
22 “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
וְקַמְתִּי עֲלֵיהֶם נְאֻם יְהוָה צְבָאוֹת וְהִכְרַתִּי לְבָבֶל שֵׁם וּשְׁאָר וְנִין וָנֶכֶד נְאֻם־יְהוָֽה׃
23 “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu, n’entobazzi era mwere n’olweyo oluzikiriza,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
וְשַׂמְתִּיהָ לְמוֹרַשׁ קִפֹּד וְאַגְמֵי־מָיִם וְטֵֽאטֵאתִיהָ בְּמַטְאֲטֵא הַשְׁמֵד נְאֻם יְהוָה צְבָאֽוֹת׃
24 Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.
נִשְׁבַּע יְהוָה צְבָאוֹת לֵאמֹר אִם־לֹא כַּאֲשֶׁר דִּמִּיתִי כֵּן הָיָתָה וְכַאֲשֶׁר יָעַצְתִּי הִיא תָקֽוּם׃
25 Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyirira ku nsozi zange. Ekikoligo kye kiribavaako, n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
לִשְׁבֹּר אַשּׁוּר בְּאַרְצִי וְעַל־הָרַי אֲבוּסֶנּוּ וְסָר מֵֽעֲלֵיהֶם עֻלּוֹ וְסֻבֳּלוֹ מֵעַל שִׁכְמוֹ יָסֽוּר׃
26 Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna: era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
זֹאת הָעֵצָה הַיְּעוּצָה עַל־כָּל־הָאָרֶץ וְזֹאת הַיָּד הַנְּטוּיָה עַל־כָּל־הַגּוֹיִֽם׃
27 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
כִּֽי־יְהוָה צְבָאוֹת יָעָץ וּמִי יָפֵר וְיָדוֹ הַנְּטוּיָה וּֽמִי יְשִׁיבֶֽנָּה׃
28 Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
בִּשְׁנַת־מוֹת הַמֶּלֶךְ אָחָז הָיָה הַמַּשָּׂא הַזֶּֽה׃
29 Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera, n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
אַֽל־תִּשְׂמְחִי פְלֶשֶׁת כֻּלֵּךְ כִּי נִשְׁבַּר שֵׁבֶט מַכֵּךְ כִּֽי־מִשֹּׁרֶשׁ נָחָשׁ יֵצֵא צֶפַע וּפִרְיוֹ שָׂרָף מְעוֹפֵֽף׃
30 Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
וְרָעוּ בְּכוֹרֵי דַלִּים וְאֶבְיוֹנִים לָבֶטַח יִרְבָּצוּ וְהֵמַתִּי בָֽרָעָב שָׁרְשֵׁךְ וּשְׁאֵרִיתֵךְ יַהֲרֹֽג׃
31 Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna! Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
הֵילִילִֽי שַׁעַר זַֽעֲקִי־עִיר נָמוֹג פְּלֶשֶׁת כֻּלֵּךְ כִּי מִצָּפוֹן עָשָׁן בָּא וְאֵין בּוֹדֵד בְּמוֹעָדָֽיו׃
32 Kale kiki kye banaddamu ababaka b’eggwanga eryo? “Mukama yassaawo Sayuuni, ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”
וּמַֽה־יַּעֲנֶה מַלְאֲכֵי־גוֹי כִּי יְהוָה יִסַּד צִיּוֹן וּבָהּ יֶחֱסוּ עֲנִיֵּי עַמּֽוֹ׃

< Isaaya 14 >