< Isaaya 13 >

1 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.
アモツの子イザヤに示されたバビロンについての託宣。
2 Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu, mubakaabirire mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
あなたがたは木のない山に旗を立て、声をあげて彼らを招き、手を振って彼らを貴族の門に、はいらせよ。
3 Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange mpise abalwanyi bange ab’amaanyi, babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.
わたしはわが怒りのさばきを行うために聖別した者どもに命じ、わが勇士、わが勝ち誇る者どもを招いた。
4 Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi, nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene! Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka, olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu! Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka eggye lye okulwana.
聞け、多くの民のような騒ぎ声が山々に聞える。聞け、もろもろの国々、寄りつどえるもろもろの国民のざわめく声が聞える。これは万軍の主が戦いのために軍勢を集められるのだ。
5 Bava wala mu nsi ezeewala ennya okuva ku nkomerero y’eggulu. Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa eby’okuzikiriza ensi yonna.
彼らは遠い国から、天の果から来る。これは、主とその憤りの器で、全地を滅ぼすために来るのだ。
6 Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
あなたがたは泣き叫べ。主の日が近づき、滅びが全能者から来るからだ。
7 Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
それゆえ、すべての手は弱り、すべての人の心は溶け去る。
8 era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
彼らは恐れおののき、苦しみと悩みに捕えられ、子を産まんとする女のようにもだえ苦しみ、互に驚き、顔を見あわせ、その顔は炎のようになる。
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
見よ、主の日が来る。残忍で、憤りと激しい怒りとをもってこの地を荒し、その中から罪びとを断ち滅ぼすために来る。
10 Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo, n’omwezi nagwo tegulyaka.
天の星とその星座とはその光を放たず、太陽は出ても暗く、月はその光を輝かさない。
11 Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo, n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
わたしはその悪のために世を罰し、その不義のために悪い者を罰し、高ぶる者の誇をとどめ、あらぶる者の高慢を低くする。
12 Abantu ndibafuula abebbula okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
わたしは人を精金よりも、オフルのこがねよりも少なくする。
13 Noolwekyo ndikankanya eggulu, era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye, ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.
それゆえ、万軍の主の憤りにより、その激しい怒りの日に、天は震い、地は揺り動いて、その所をはなれる。
14 Era ng’empeewo eyiggibwa, ng’endiga eteriiko agirunda, buli muntu aliddukira eri abantu be buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
彼らは追われた、かもしかのように、あるいは集める者のない羊のようになって、おのおの自分の民に帰り、自分の国に逃げて行く。
15 Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu, buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
すべて見いだされる者は刺され、すべて捕えられる者はつるぎによって倒され、
16 N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba; ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.
彼らのみどりごはその目の前で投げ砕かれ、その家はかすめ奪われ、その妻は汚される。
17 Laba, ndibayimbulira Abameedi, abatafa ku ffeeza era abateeguya zaabu.
見よ、わたしは、しろがねをも顧みず、こがねをも喜ばないメデアびとを起して、彼らにむかわせる。
18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka era tebaliba na kisa eri abawere. Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
彼らの弓は若い者を射殺し、腹の実をあわれむことなく、幼な子を見て、惜しむことがない。
19 Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka, obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya, kiriba nga Sodomu ne Ggomola Katonda bye yawamba.
国々の誉であり、カルデヤびとの誇である麗しいバビロンは、神に滅ぼされたソドム、ゴモラのようになる。
20 Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe, so teri Muwalabu alisimbayo weema ye, teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
ここにはながく住む者が絶え、世々にいたるまで住みつく者がなく、アラビヤびともそこに天幕を張らず、羊飼もそこに群れを伏させることがない。
21 Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo; ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola; bammaaya banaabeeranga eyo, n’ebikulekule bibuukire eyo.
ただ、野の獣がそこに伏し、ほえる獣がその家に満ち、だちょうがそこに住み、鬼神がそこに踊る。
22 N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe, ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana. Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, ennaku ze teziryongerwako.
ハイエナはその城の中で鳴き、山犬は楽しい宮殿でほえる。その時の来るのは近い、その日は延びることがない。

< Isaaya 13 >