< Isaaya 12 >

1 Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
And in that day thou shalt say, O LORD, I will praise thee: though thou wast angry with me, thine anger is turned away, and thou comfortedst me.
2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.”
Behold, God [is] my salvation; I will trust, and not be afraid: for the LORD JEHOVAH [is] my strength and [my] song; he also is become my salvation.
3 Munaasenanga n’essanyu amazzi okuva mu nzizi ez’obulokozi.
Therefore with joy shall ye draw water out of the wells of salvation.
4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
And in that day shall ye say, Praise the LORD, call upon his name, declare his doings among the people, make mention that his name is exalted.
5 Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
Sing unto the LORD; for he hath done excellent things: this [is] known in all the earth.
6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Cry out and shout, thou inhabitant of Zion: for great [is] the Holy One of Israel in the midst of thee.

< Isaaya 12 >