< Isaaya 11 >

1 Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese, ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
ヱツサイの株より一つの芽いでその根より一つの枝はえて實をむすばん
2 Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
その上にヱホバの靈とどまらんこれ智慧聰明の靈謀略才能の靈知識の靈ヱホバをおそるるの靈なり
3 Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda. Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba, oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
かれはヱホバを畏るるをもて歡樂としまた目みるところによりて審判をなさず耳きくところによりて断定をなさず
4 naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
正義をもて貧しき者をさばき公平をもて國のうちの卑しき者のために斷定をなしその口の杖をもて國をうちその口唇の氣息をもて惡人をころすべし
5 Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya, n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
正義はその腰の帯となり忠信はその身のおびとならん
6 Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi; era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu; era omwana omuto yalizirabirira.
おほかみは小羊とともにやどり豹は小山羊とともにふし犢をじし肥たる家畜ともに居てちひさき童子にみちびかれ
7 Ente n’eddubu biririira wamu, abaana baazo banaagalamiranga wamu. Empologoma erirya omuddo ng’ente.
牝牛と熊とはくひものを同にし熊の子と牛の子とともにふし獅はうしのごとく藁をくらひ
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera, n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
乳兒は毒蛇のほらにたはふれ乳ばなれの兒は手をまむしの穴にいれん
9 Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
斯てわが聖山のいづこにても害ふことなく傷ることなからんそは水の海をおほへるごとくヱホバをしるの知識地にみつべければなり
10 Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
その日ヱツサイの根たちてもろもろの民の旂となりもろもろの邦人はこれに服ひきたり榮光はそのとどまる所にあらん
11 Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.
その日主はまたふたたび手をのべてその民ののこれる僅かのものをアツスリヤ、エジプト、パテロス、エテオピア、エラム、シナル、ハマテおよび海のしまじまより贖ひたまふべし
12 Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri; aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
ヱホバは國々の爲に旂をたててイスラエルの逐やられたる者をあつめ地の四極よりユダの散失たるものを集へたまはん
13 Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo, n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
またエフライムの猜はうせユダを惱ますものは斷れエフライムはユダをそねまずユダはエフライムを惱ますことなかるべし
14 Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba; era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba. Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n’abaana ba Amoni balibagondera.
かれらは西なるペリシテ人の境にとびゆき相共にひがしの子輩をかすめその手をエドムおよびモアブにのべアンモンの子孫をおのれに服はしめん
15 Era Mukama Katonda alikaliza omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri; era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati ne guleetawo omuyaga ogukaza, agwawulemu ebitundu musanvu abantu bye banaasomokanga ku bigere.
ヱホバ、エジプトの海汊をからし河のうへに手をふりて熱風をふかせその河をうちて七の小流となし履をはきて渉らしめたまはん
16 Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga eryasigala ku Bwasuli nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku lwe baaviirako mu Misiri.
斯てその民ののこれる僅かのものの爲にアツスリヤより來るべき叫つの大路あり昔しイスラエルがエジプトの地よりいでし時のごとくなるべし

< Isaaya 11 >