< Isaaya 10 >
1 Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
不義のおきてをさだめ暴虐のことばを録すものは禍ひなるかな
2 okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
かれらは乏きものの訴をうけず わが民のなかの貧しきものの權利をはぎ寡婦の資産をうばひ孤兒のものを掠む
3 Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango ne mu kuzikirira okuliva ewala? Muliddukira w’ani alibayamba? Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
なんぢら懲しめらるる日きたらば何をなさんとするか 敗壞とほきより來らんとき何をなさんとするか なんぢら逃れゆきて誰にすくひを求めんとするか また何處になんぢらの榮をのこさんとするか
4 Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okuba mu abo abattiddwa. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
ただ縛められたるものの下にかがみ 殺されたるもののしたに伏仆れんのみ 然はあれどヱホバのいかり止ずして尚ほその手をのばしたまふ
5 “Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange, era omuggo gw’ekiruyi kyange.
咄アツスリヤ人なんぢはわが怒の杖なり その手の苔はわが忿恚なり
6 Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era mmusindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage, ababbire ddala, n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
われ彼をつかはして邪曲なる國をせめ我かれに命じて我がいかれる民をせめてその所有をかすめその財寶をうばはしめかれらを街の泥のごとくに蹂躪らしめん
7 Naye kino si kye kigendererwa kye, kino si ky’alowooza. Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza, okumalirawo ddala amawanga mangi.
されどアツスリヤ人のこころざしは斯のごとくならずその心の念もまた斯のごとくならずそのこころは敗壞をこのみあまたの國をほろぼし絶ん
8 ‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
かれ云わが諸侯はみな王にあらずや
9 ‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi, ne Kamasi nga Alupaadi, ne Samaliya nga Ddamasiko?
カルノはカルケミシの如くハマテはアルパデの如くサマリヤはダマスコの如きにあらずや
10 Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje, abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
わが手は偶像につかふる國々を得たり その彫たる像はヱルサレムおよびサマリヤのものに勝れたり
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’”
われ既にサマリヤとその偶像とに行へるごとく亦ヱルサレムとその偶像とにおこなはざる可んやと
12 Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
このゆゑに主いひたまふ我シォンの山とヱルサレムとに爲んとする事をことごとく遂をはらんとき我アツスリヤ王のおごれる心の實とその高ぶり仰ぎたる眼とを罰すべし
13 Kubanga yayogera nti, “‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, era n’olw’amagezi gange, kubanga ndi mukalabakalaba: Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe, ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
そは彼いヘらくわれ手の力と智慧とによりて之をなせり我はかしこし國々の境をのぞきその獲たるものをうばひ又われは丈夫にしてかの位に坐するものを下したり
14 Ng’omuntu bw’akwata mu kisu, omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga; ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo, bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna, tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro, newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’”
わが手もろもろの民のたからを得たりしは巣をとるが如くまた天が下を取收めたりしは遺しすてたる卵をとりあつむるが如くなりき あるひは翼をうごかしあるひは口をひらきあるひは喃々する者もなかりしなりと
15 Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa, oba omuggo okusitula oyo atali muti.
斧はこれをもちゐて伐ものにむかひて己みづから誇ることをせんや鋸はこれを動かす者にむかひて己みづから高ぶることをせんや此はあだかも笞がおのれを擧るものを動かし杖みづから木にあらざるものを擧んとするにひとし
16 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna, kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja, era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro ogwokya ng’oluyiira.
このゆゑに主萬軍のヱホバは肥たるものを瘠しめ且その榮光のしたに火のもゆるが如き火焰をおこし給はん
17 Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro, n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro, mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
イスラエルの光は火のごとくその聖者はほのほの如くならん斯て一日のうちに荊とおどろとを焼ほろぼし
18 Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye, n’ennimiro ze, engimu, ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
又かの林と土肥たる田圃の榮をうせしめ靈魂をも身をもうせしめて病るものの衰へたるが如くなさん
19 N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo nga n’omwana ayinza okugibala.
かつ林のうちに殘れる木わづかにして童子も算へうるが如くになるべし
20 Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri, n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo nga tebakyeyinulira ku oyo eyabakuba naye nga beesigama ku Mukama Katonda, omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
その日イスラエルの遺れる者とヤコブの家ののがれたる者とは再びおのれを撃し者にたよらず誠意をもてイスラエルの聖者ヱホバにたよらん
21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
その遺れるものヤコブの遣れるものは大能の神にかヘるべし
22 Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja, abalikomawo nga balamu baliba batono. Okuzikirira kwo kwa kubaawo kubanga kusaanidde.
ああイスラエルよなんぢの民は海の沙のごとしといへども遺りて歸りきたる者はただ僅少ならんそは敗壞すでにさだまり義にて溢るべければなり
23 Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
主萬軍のヱホバの定めたまヘる敗壞はこれを徧く國内におこなひ給ふべし
24 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti, “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutyanga Abasuli, newaakubadde nga babakuba n’oluga era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
このゆゑに主萬軍のヱホバいひたまはくシオンに住るわが民よアツスリヤ人エジプトの例にならひ苔をもて汝をうち杖をあげて汝をせむるとも懼るるなかれ
25 Kubanga mu kaseera katono nnyo obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
ただ頃刻にして忿恚はやまん我がいかりは彼等をほろぼして息ん
26 Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu. Era aligololera oluga lwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri.
萬軍のヱホバむかしミデアン人をオレブの巖のあたりにて撃たまひしごとくに禍害をおこして之をせめ又その杖を海のうへに伸しエジプトの例にしたがひてこれを擧たまはん
27 Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo, n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo; ekikoligo kirimenyebwa olw’obugevvu bwo.
その日かれの重荷はなんぢの肩より下かれの軌はなんぢの頸よりはなれその軛はあぶらの故をもて壞れん
28 Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi, liyise mu Migulooni, era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
かれアイにきたりミグロンを過ミクマシにてその輜重をとどめ
29 Bayise awavvuunukirwa, e Geba ne basulayo ekiro kimu, Laama akankana, Gibea wa Sawulo adduse.
渡口をすぎてゲバに宿るここに於てラマはをののきサウルギべア人は逃れはしれり
30 Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu! Ggwe Layisa wuliriza! Ng’olabye Anasosi!
ガリムの女よなんぢ聲をあげて叫べライシよ耳をかたぶけて聽けアナトテよなんぢも聲をあげよ
31 Madumena adduse, abantu b’e Gebimu beekukumye.
マデメナはさすらひゲビムの民はのがれ走れり
32 Olwa leero bajja kusibira Nobu, balyolekeza ekikonde kyabwe eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni, akasozi ka Yerusaalemi.
この日かれノブに立とどまりシオンのむすめの山ヱルサレムの岡にむかひて手をふりたり
33 Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alitema amatabi n’entiisa n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala, n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
主ばんぐんのヱホバは雄々しくたけびてその枝を斷たまはん丈高きものは伐おとされ聳えたる者はひくくせらるべし
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira; Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
また銕をもて茂りあふ林をきり給はんレバノンは能力あるものに倒さるべし