< Koseya 9 >

1 Tosanyuka ggwe Isirayiri; tojaguza ng’amawanga amalala, kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo, weegomba empeera eya malaaya ku buli gguuliro.
אַל־תִּשְׂמַח יִשְׂרָאֵל ׀ אֶל־גִּיל כָּֽעַמִּים כִּי זָנִיתָ מֵעַל אֱלֹהֶיךָ אָהַבְתָּ אֶתְנָן עַל כָּל־גָּרְנוֹת דָּגָֽן׃
2 Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa, ne wayini omusu alibaggwaako.
גֹּרֶן וָיֶקֶב לֹא יִרְעֵם וְתִירוֹשׁ יְכַחֶשׁ בָּֽהּ׃
3 Tebalisigala mu nsi ya Mukama; Efulayimu aliddayo e Misiri n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
לֹא יֵשְׁבוּ בְּאֶרֶץ יְהוָה וְשָׁב אֶפְרַיִם מִצְרַיִם וּבְאַשּׁוּר טָמֵא יֹאכֵֽלוּ׃
4 Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama, so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa. Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi, ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu. Emmere eyo eriba yaabwe bo, so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
לֹא־יִסְּכוּ לַיהוָה ׀ יַיִן וְלֹא יֶֽעֶרְבוּ־לוֹ זִבְחֵיהֶם כְּלֶחֶם אוֹנִים לָהֶם כָּל־אֹכְלָיו יִטַמָּאוּ כִּֽי־לַחְמָם לְנַפְשָׁם לֹא יָבוֹא בֵּית יְהוָֽה׃
5 Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa, ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
מַֽה־תַּעֲשׂוּ לְיוֹם מוֹעֵד וּלְיוֹם חַג־יְהוָֽה׃
6 Ne bwe baliwona okuzikirira, Misiri alibakuŋŋaanya, ne Menfisi alibaziika. Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika, n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
כִּֽי־הִנֵּה הָֽלְכוּ מִשֹּׁד מִצְרַיִם תְּקַבְּצֵם מֹף תְּקַבְּרֵם מַחְמַד לְכַסְפָּם קִמּוֹשׂ יִֽירָשֵׁם חוֹחַ בְּאָהֳלֵיהֶֽם׃
7 Ennaku ez’okubonerezebwa zijja, ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi. Ekyo Isirayiri akimanye. Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo, n’obukambwe bwammwe obungi, nnabbi ayitibwa musirusiru, n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
בָּאוּ ׀ יְמֵי הַפְּקֻדָּה בָּאוּ יְמֵי הַשִׁלֻּם יֵדְעוּ יִשְׂרָאֵל אֱוִיל הַנָּבִיא מְשֻׁגָּע אִישׁ הָרוּחַ עַל רֹב עֲוֺנְךָ וְרַבָּה מַשְׂטֵמָֽה׃
8 Nnabbi awamu ne Katonda wange ye mukuumi wa Efulayimu, newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye, n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
צֹפֶה אֶפְרַיִם עִם־אֱלֹהָי נָבִיא פַּח יָקוֹשׁ עַל־כָּל־דְּרָכָיו מַשְׂטֵמָה בְּבֵית אֱלֹהָֽיו׃
9 Boonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez’e Gibea. Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, n’ababonereza olw’ebibi byabwe.
הֶעְמִֽיקוּ־שִׁחֵתוּ כִּימֵי הַגִּבְעָה יִזְכּוֹר עֲוֺנָם יִפְקוֹד חַטֹּאותָֽם׃
10 We nasangira Isirayiri, kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu. Bwe nalaba bajjajjammwe, kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini. Naye bwe bajja e Baalipyoli, beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi, ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
כַּעֲנָבִים בַּמִּדְבָּר מָצָאתִי יִשְׂרָאֵל כְּבִכּוּרָה בִתְאֵנָה בְּרֵאשִׁיתָהּ רָאִיתִי אֲבֽוֹתֵיכֶם הֵמָּה בָּאוּ בַֽעַל־פְּעוֹר וַיִּנָּֽזְרוּ לַבֹּשֶׁת וַיִּהְיוּ שִׁקּוּצִים כְּאָהֳבָֽם׃
11 Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
אֶפְרַיִם כָּעוֹף יִתְעוֹפֵף כְּבוֹדָם מִלֵּדָה וּמִבֶּטֶן וּמֵהֵרָיֽוֹן׃
12 Ne bwe balikuza abaana baabwe, ndibabaggyako bonna. Ziribasanga bwe ndibavaako.
כִּי אִם־יְגַדְּלוּ אֶת־בְּנֵיהֶם וְשִׁכַּלְתִּים מֵֽאָדָם כִּֽי־גַם־אוֹי לָהֶם בְּשׂוּרִי מֵהֶֽם׃
13 Nalaba Efulayimu ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali. Naye Efulayimu alifulumya abaana be ne battibwa.
אֶפְרַיִם כַּאֲשֶׁר־רָאִיתִי לְצוֹר שְׁתוּלָה בְנָוֶה וְאֶפְרַיִם לְהוֹצִיא אֶל־הֹרֵג בָּנָֽיו׃
14 Bawe Ayi Mukama Katonda. Olibawa ki? Leetera embuto zaabwe okuvaamu obawe n’amabeere amakalu.
תֵּן־לָהֶם יְהוָה מַה־תִּתֵּן תֵּן־לָהֶם רֶחֶם מַשְׁכִּיל וְשָׁדַיִם צֹמְקִֽים׃
15 Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali, kyennava mbakyayira eyo. Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, kyendiva mbagoba mu nnyumba yange. Siribaagala nate; abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
כָּל־רָעָתָם בַּגִּלְגָּל כִּֽי־שָׁם שְׂנֵאתִים עַל רֹעַ מַֽעַלְלֵיהֶם מִבֵּיתִי אֲגָרְשֵׁם לֹא אוֹסֵף אַהֲבָתָם כָּל־שָׂרֵיהֶם סֹרְרִֽים׃
16 Efulayimu balwadde, emirandira gyabwe gikaze, tebakyabala bibala. Ne bwe balizaala abaana baabwe, nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
הֻכָּה אֶפְרַיִם שָׁרְשָׁם יָבֵשׁ פְּרִי בלי־בַֽל־יַעֲשׂוּן גַּם כִּי יֵֽלֵדוּן וְהֵמַתִּי מַחֲמַדֵּי בִטְנָֽם׃
17 Katonda wange alibavaako kubanga tebamugondedde; baliba momboze mu mawanga.
יִמְאָסֵם אֱלֹהַי כִּי לֹא שָׁמְעוּ לוֹ וְיִהְיוּ נֹדְדִים בַּגּוֹיִֽם׃

< Koseya 9 >