< Koseya 6 >
1 “Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.
2 Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.
3 Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika; alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira, era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4 Nkukolere ki, Efulayimu? Nkukolere ki, Yuda? Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya, era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5 Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu, ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange, era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6 Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka, era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7 Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano, tebaali beesigwa.
8 Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi, era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
9 Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo, n’ebibiina bya bakabona bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu, ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 Ndabye eby’ekivve mu nnyumba ya Isirayiri; era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya, ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
11 “Naawe Yuda, amakungula gatuuse. “Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,