< Koseya 5 >
1 Muwulire kino mmwe bakabona! Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri! Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka! Omusango guli ku mmwe: Mubadde kyambika e Mizupa, era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2 Abajeemu bamaliridde okutta, naye ndibabonereza bonna.
3 Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu, so ne Isirayiri tankisibwa. Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya, ne Isirayiri yeeyonoonye.
4 Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe, so tebamanyi Mukama.
5 Amalala ga Isirayiri gabalumiriza; Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe; ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6 Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe okunoonya Mukama, tebalimulaba; abaviiridde, abeeyawuddeko.
7 Tebabadde beesigwa eri Mukama; bazadde abaana aboobwenzi. Embaga ez’omwezi ogwakaboneka kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8 Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea, n’ekkondeere mu Laama. Muyimuse amaloboozi e Besaveni; mutukulembere mmwe Benyamini.
9 Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okubonerezebwa. Nnangirira ebiribaawo mu bika bya Isirayiri.
10 Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo abajjulula ensalo, era ndibafukako obusungu bwange ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 Efulayimu anyigirizibwa, era omusango gumumezze, kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu, n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13 “Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda n’alaba ekivundu kye, Efulayimu n’addukira mu Bwasuli, n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu. Naye tasobola kubawonya newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”