< Koseya 4 >

1 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri, kubanga Mukama abalinako ensonga mmwe abatuula mu nsi. “Obwesigwa n’okwagala Katonda, n’okumumanya bikendedde mu nsi.
שמעו דבר יהוה בני ישראל כי ריב ליהוה עם יושבי הארץ--כי אין אמת ואין חסד ואין דעת אלהים בארץ
2 Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta, n’okubba, n’okukola eby’obwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.
אלה וכחש ורצח וגנב ונאף פרצו ודמים בדמים נגעו
3 Ensi kyeneeva ekaaba, ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa; n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
על כן תאבל הארץ ואמלל כל יושב בה בחית השדה ובעוף השמים וגם דגי הים יאספו
4 “Naye temuloopagana, so tewabaawo muntu avunaana munne, kubanga ensonga ngivunaana gwe kabona.
אך איש אל ירב ואל יוכח איש ועמך כמריבי כהן
5 Wakola ebibi emisana n’ekiro, ne bannabbi ne babikolera wamu naawe; kyendiva nzikiriza maama wo.
וכשלת היום וכשל גם נביא עמך לילה ודמיתי אמך
6 Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya. “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
נדמו עמי מבלי הדעת כי אתה הדעת מאסת ואמאסאך (ואמאסך) מכהן לי ותשכח תורת אלהיך אשכח בניך גם אני
7 Gye beeyongera okuba abangi, gye baakoma n’okukola ebibi; baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
כרבם כן חטאו לי כבודם בקלון אמיר
8 Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange, era basemba okwonoona kwabwe.
חטאת עמי יאכלו ואל עונם ישאו נפשו
9 Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona: ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe, era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
והיה כעם ככהן ופקדתי עליו דרכיו ומעלליו אשיב לו
10 “Balirya naye tebalikkuta, balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi, kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo
ואכלו ולא ישבעו הזנו ולא יפרצו כי את יהוה עזבו לשמר
11 eri obwenzi, wayini omukadde n’omusu, ne bibamalamu okutegeera.
זנות ויין ותירוש יקח לב
12 Abantu bange beebuuza ku kikonge ky’omuti, ne baddibwamu omuti. Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
עמי בעצו ישאל ומקלו יגיד לו כי רוח זנונים התעה ויזנו מתחת אלהיהם
13 Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi, ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi, wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera awali ekisiikirize ekirungi. Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya, ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
על ראשי ההרים יזבחו ועל הגבעות יקטרו תחת אלון ולבנה ואלה כי טוב צלה על כן תזנינה בנותיכם וכלותיכם תנאפנה
14 “Siribonereza bawala bammwe olw’okubeera bamalaaya, newaakubadde baka baana bammwe okukola eby’obwenzi, kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya, ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo; abantu abatategeera balizikirira.
לא אפקוד על בנותיכם כי תזנינה ועל כלותיכם כי תנאפנה--כי הם עם הזנות יפרדו ועם הקדשות יזבחו ועם לא יבין ילבט
15 “Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda, omusango guleme okuba ku Yuda. Togenda Girugaali, newaakubadde okwambuka e Besaveni. Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
אם זנה אתה ישראל אל יאשם יהודה ואל תבאו הגלגל ואל תעלו בית און ואל תשבעו חי יהוה
16 Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ng’ennyana endalu. Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
כי כפרה סררה סרר ישראל עתה ירעם יהוה ככבש במרחב
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi, mumuleke abeere yekka.
חבור עצבים אפרים הנח לו
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako, beeyongera mu bwamalaaya; n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
סר סבאם הזנה הזנו אהבו הבו קלון מגניה
19 Embuyaga kyeziriva zibatwala, ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
צרר רוח אותה בכנפיה ויבשו מזבחותם

< Koseya 4 >