< Koseya 2 >

1 “Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’”
אמרו לאחיכם עמי ולאחותיכם רחמה
2 Munenye nnyammwe, mumunenye, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba. Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge, n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
ריבו באמכם ריבו--כי היא לא אשתי ואנכי לא אישה ותסר זנוניה מפניה ונאפופיה מבין שדיה
3 nneme okumwambulira ddala ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa; ne mmufuula ng’eddungu, ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa, ne mmussa ennyonta.
פן אפשיטנה ערמה--והצגתיה כיום הולדה ושמתיה כמדבר ושתה כארץ ציה והמתיה בצמא
4 Sirilaga kwagala kwange eri abaana be, kubanga baana ba bwenzi.
ואת בניה לא ארחם כי בני זנונים המה
5 Nnyabwe yakola obwenzi, n’abazaalira mu buwemu. Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi, n’ebimbugumya n’ebyokwambala, n’amafuta n’ekyokunywa.”
כי זנתה אמם הבישה הורתם כי אמרה אלכה אחרי מאהבי נתני לחמי ומימי צמרי ופשתי שמני ושקויי
6 Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa, ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
לכן הנני שך את דרכך בסירים וגדרתי את גדרה ונתיבותיה לא תמצא
7 Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate, naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba. Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka, kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga bwe ndi kaakano.”
ורדפה את מאהביה ולא תשיג אתם ובקשתם ולא תמצא ואמרה אלכה ואשובה אל אישי הראשון--כי טוב לי אז מעתה
8 Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano, ne wayini n’amafuta, era eyamuwa effeeza ne zaabu bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
והיא לא ידעה כי אנכי נתתי לה הדגן והתירוש והיצהר וכסף הרביתי לה וזהב עשו לבעל
9 “Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde, ne wayini wange ng’atuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga.
לכן אשוב--ולקחתי דגני בעתו ותירושי במועדו והצלתי צמרי ופשתי לכסות את ערותה
10 Era kyenaava nyanika obukaba bwe mu maaso ga baganzi be, so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
ועתה אגלה את נבלתה לעיני מאהביה ואיש לא יצילנה מידי
11 Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka, n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
והשבתי כל משושה חגה חדשה ושבתה--וכל מועדה
12 Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye, gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’ Ndibizisa, era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
והשמתי גפנה ותאנתה אשר אמרה אתנה המה לי אשר נתנו לי מאהבי ושמתים ליער ואכלתם חית השדה
13 Ndimubonereza olw’ennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo, n’agenda eri baganzi be, naye nze n’aneerabira,” bw’ayogera Mukama.
ופקדתי עליה את ימי הבעלים אשר תקטיר להם ותעד נזמה וחליתה ותלך אחרי מאהביה ואתי שכחה נאם יהוה
14 Kale kyendiva musendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne njogera naye n’eggonjebwa.
לכן הנה אנכי מפתיה והלכתיה המדבר ודברתי על לבה
15 Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli oluggi olw’essuubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
ונתתי לה את כרמיה משם ואת עמק עכור לפתח תקוה וענתה שמה כימי נעוריה וכיום עלותה מארץ מצרים
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’”
והיה ביום ההוא נאם יהוה תקראי אישי ולא תקראי לי עוד בעלי
17 Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke, so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
והסרתי את שמות הבעלים מפיה ולא יזכרו עוד בשמם
18 Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyewalula ku ttaka, era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi, bonna ne batuula mirembe.
וכרתי להם ברית ביום ההוא עם חית השדה ועם עוף השמים ורמש האדמה וקשת וחרב ומלחמה אשבור מן הארץ והשכבתים לבטח
19 Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira.
וארשתיך לי לעולם וארשתיך לי בצדק ובמשפט ובחסד וברחמים
20 Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.
וארשתיך לי באמונה וידעת את יהוה
21 “Ku lunaku olwo, ndyanukula eggulu, nalyo ne lyanukula ensi;
והיה ביום ההוא אענה נאם יהוה--אענה את השמים והם יענו את הארץ
22 ensi erimeramu emmere ey’empeke, ne wayini n’amafuta, nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,” bw’ayogera Mukama.
והארץ תענה את הדגן ואת התירוש ואת היצהר והם יענו את יזרעאל
23 “Ndimwesimbira mu nsi, ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa, era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’ era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’”
וזרעתיה לי בארץ ורחמתי את לא רחמה ואמרתי ללא עמי עמי אתה והוא יאמר אלהי

< Koseya 2 >