< Koseya 10 >

1 Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
גֶּפֶן בּוֹקֵק יִשְׂרָאֵל פְּרִי יְשַׁוֶּה־לּוֹ כְּרֹב לְפִרְיוֹ הִרְבָּה לַֽמִּזְבְּחוֹת כְּטוֹב לְאַרְצוֹ הֵיטִיבוּ מַצֵּבֽוֹת׃
2 Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.
חָלַק לִבָּם עַתָּה יֶאְשָׁמוּ הוּא יַעֲרֹף מִזְבְּחוֹתָם יְשֹׁדֵד מַצֵּבוֹתָֽם׃
3 Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka kubanga tetwatya Mukama. Naye ne bwe twandibadde ne kabaka, yanditukoleddeyo ki?”
כִּי עַתָּה יֹֽאמְרוּ אֵין מֶלֶךְ לָנוּ כִּי לֹא יָרֵאנוּ אֶת־יְהֹוָה וְהַמֶּלֶךְ מַה־יַּֽעֲשֶׂה־לָּֽנוּ׃
4 Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
דִּבְּרוּ דְבָרִים אָלוֹת שָׁוְא כָּרֹת בְּרִית וּפָרַח כָּרֹאשׁ מִשְׁפָּט עַל תַּלְמֵי שָׂדָֽי׃
5 Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
לְעֶגְלוֹת בֵּית אָוֶן יָגוּרוּ שְׁכַן שֹֽׁמְרוֹן כִּי־אָבַל עָלָיו עַמּוֹ וּכְמָרָיו עָלָיו יָגִילוּ עַל־כְּבוֹדוֹ כִּֽי־גָלָה מִמֶּֽנּוּ׃
6 Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
גַּם־אוֹתוֹ לְאַשּׁוּר יוּבָל מִנְחָה לְמֶלֶךְ יָרֵב בָּשְׁנָה אֶפְרַיִם יִקָּח וְיֵבוֹשׁ יִשְׂרָאֵל מֵעֲצָתֽוֹ׃
7 Samaliya ne kabaka we balitwalibwa ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
נִדְמֶה שֹׁמְרוֹן מַלְכָּהּ כְּקֶצֶף עַל־פְּנֵי־מָֽיִם׃
8 Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n’obusozi nti, “Mutugweko.”
וְנִשְׁמְדוּ בָּמוֹת אָוֶן חַטַּאת יִשְׂרָאֵל קוֹץ וְדַרְדַּר יַעֲלֶה עַל־מִזְבְּחוֹתָם וְאָמְרוּ לֶֽהָרִים כַּסּוּנוּ וְלַגְּבָעוֹת נִפְלוּ עָלֵֽינוּ׃
9 Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
מִימֵי הַגִּבְעָה חָטָאתָ יִשְׂרָאֵל שָׁם עָמָדוּ לֹֽא־תַשִּׂיגֵם בַּגִּבְעָה מִלְחָמָה עַל־בְּנֵי עַֽלְוָֽה׃
10 Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza; amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo, ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
בְּאַוָּתִי וְאֶסֳּרֵם וְאֻסְּפוּ עֲלֵיהֶם עַמִּים בְּאָסְרָם לִשְׁתֵּי עינתם עוֹנֹתָֽם׃
11 Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.
וְאֶפְרַיִם עֶגְלָה מְלֻמָּדָה אֹהַבְתִּי לָדוּשׁ וַאֲנִי עָבַרְתִּי עַל־טוּב צַוָּארָהּ אַרְכִּיב אֶפְרַיִם יַחֲרוֹשׁ יְהוּדָה יְשַׂדֶּד־לוֹ יַעֲקֹֽב׃
12 Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alidda n’abafukako obutuukirivu.
זִרְעוּ לָכֶם לִצְדָקָה קִצְרוּ לְפִי־חֶסֶד נִירוּ לָכֶם נִיר וְעֵת לִדְרוֹשׁ אֶת־יְהוָה עַד־יָבוֹא וְיֹרֶה צֶדֶק לָכֶֽם׃
13 Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala eby’obulimba. Olw’okwesiga amaanyi go, n’abalwanyi bo abangi,
חֲרַשְׁתֶּם־רֶשַׁע עַוְלָתָה קְצַרְתֶּם אֲכַלְתֶּם פְּרִי־כָחַשׁ כִּֽי־בָטַחְתָּ בְדַרְכְּךָ בְּרֹב גִּבּוֹרֶֽיךָ׃
14 olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
וְקָאם שָׁאוֹן בְּעַמֶּךָ וְכָל־מִבְצָרֶיךָ יוּשַּׁד כְּשֹׁד שַֽׁלְמַן בֵּית אַֽרְבֵאל בְּיוֹם מִלְחָמָה אֵם עַל־בָּנִים רֻטָּֽשָׁה׃
15 Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
כָּכָה עָשָׂה לָכֶם בֵּֽית־אֵל מִפְּנֵי רָעַת רָֽעַתְכֶם בַּשַּׁחַר נִדְמֹה נִדְמָה מֶלֶךְ יִשְׂרָאֵֽל׃

< Koseya 10 >