< Abaebbulaniya 9 >

1 Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi.
ಸ ಪ್ರಥಮೋ ನಿಯಮ ಆರಾಧನಾಯಾ ವಿವಿಧರೀತಿಭಿರೈಹಿಕಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನೇನ ಚ ವಿಶಿಷ್ಟ ಆಸೀತ್|
2 Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu.
ಯತೋ ದೂಷ್ಯಮೇಕಂ ನಿರಮೀಯತ ತಸ್ಯ ಪ್ರಥಮಕೋಷ್ಠಸ್ಯ ನಾಮ ಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಮಿತ್ಯಾಸೀತ್ ತತ್ರ ದೀಪವೃಕ್ಷೋ ಭೋಜನಾಸನಂ ದರ್ಶನೀಯಪೂಪಾನಾಂ ಶ್ರೇಣೀ ಚಾಸೀತ್|
3 Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.
ತತ್ಪಶ್ಚಾದ್ ದ್ವಿತೀಯಾಯಾಸ್ತಿರಷ್ಕರಿಣ್ಯಾ ಅಭ್ಯನ್ತರೇ ಽತಿಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಮಿತಿನಾಮಕಂ ಕೋಷ್ಠಮಾಸೀತ್,
4 Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano.
ತತ್ರ ಚ ಸುವರ್ಣಮಯೋ ಧೂಪಾಧಾರಃ ಪರಿತಃ ಸುವರ್ಣಮಣ್ಡಿತಾ ನಿಯಮಮಞ್ಜೂಷಾ ಚಾಸೀತ್ ತನ್ಮಧ್ಯೇ ಮಾನ್ನಾಯಾಃ ಸುವರ್ಣಘಟೋ ಹಾರೋಣಸ್ಯ ಮಞ್ಜರಿತದಣ್ಡಸ್ತಕ್ಷಿತೌ ನಿಯಮಪ್ರಸ್ತರೌ,
5 Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
ತದುಪರಿ ಚ ಕರುಣಾಸನೇ ಛಾಯಾಕಾರಿಣೌ ತೇಜೋಮಯೌ ಕಿರೂಬಾವಾಸ್ತಾಮ್, ಏತೇಷಾಂ ವಿಶೇಷವೃತ್ತಾನ್ತಕಥನಾಯ ನಾಯಂ ಸಮಯಃ|
6 Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza.
ಏತೇಷ್ವೀದೃಕ್ ನಿರ್ಮ್ಮಿತೇಷು ಯಾಜಕಾ ಈಶ್ವರಸೇವಾಮ್ ಅನುತಿಷ್ಠನತೋ ದೂಷ್ಯಸ್ಯ ಪ್ರಥಮಕೋಷ್ಠಂ ನಿತ್ಯಂ ಪ್ರವಿಶನ್ತಿ|
7 Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa.
ಕಿನ್ತು ದ್ವಿತೀಯಂ ಕೋಷ್ಠಂ ಪ್ರತಿವರ್ಷಮ್ ಏಕಕೃತ್ವ ಏಕಾಕಿನಾ ಮಹಾಯಾಜಕೇನ ಪ್ರವಿಶ್ಯತೇ ಕಿನ್ತ್ವಾತ್ಮನಿಮಿತ್ತಂ ಲೋಕಾನಾಮ್ ಅಜ್ಞಾನಕೃತಪಾಪಾನಾಞ್ಚ ನಿಮಿತ್ತಮ್ ಉತ್ಸರ್ಜ್ಜನೀಯಂ ರುಧಿರಮ್ ಅನಾದಾಯ ತೇನ ನ ಪ್ರವಿಶ್ಯತೇ|
8 Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo.
ಇತ್ಯನೇನ ಪವಿತ್ರ ಆತ್ಮಾ ಯತ್ ಜ್ಞಾಪಯತಿ ತದಿದಂ ತತ್ ಪ್ರಥಮಂ ದೂಷ್ಯಂ ಯಾವತ್ ತಿಷ್ಠತಿ ತಾವತ್ ಮಹಾಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಗಾಮೀ ಪನ್ಥಾ ಅಪ್ರಕಾಶಿತಸ್ತಿಷ್ಠತಿ|
9 Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza.
ತಚ್ಚ ದೂಷ್ಯಂ ವರ್ತ್ತಮಾನಸಮಯಸ್ಯ ದೃಷ್ಟಾನ್ತಃ, ಯತೋ ಹೇತೋಃ ಸಾಮ್ಪ್ರತಂ ಸಂಶೋಧನಕಾಲಂ ಯಾವದ್ ಯನ್ನಿರೂಪಿತಂ ತದನುಸಾರಾತ್ ಸೇವಾಕಾರಿಣೋ ಮಾನಸಿಕಸಿದ್ಧಿಕರಣೇಽಸಮರ್ಥಾಭಿಃ
10 Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.
ಕೇವಲಂ ಖಾದ್ಯಪೇಯೇಷು ವಿವಿಧಮಜ್ಜನೇಷು ಚ ಶಾರೀರಿಕರೀತಿಭಿ ರ್ಯುಕ್ತಾನಿ ನೈವೇದ್ಯಾನಿ ಬಲಿದಾನಾನಿ ಚ ಭವನ್ತಿ|
11 Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno.
ಅಪರಂ ಭಾವಿಮಙ್ಗಲಾನಾಂ ಮಹಾಯಾಜಕಃ ಖ್ರೀಷ್ಟ ಉಪಸ್ಥಾಯಾಹಸ್ತನಿರ್ಮ್ಮಿತೇನಾರ್ಥತ ಏತತ್ಸೃಷ್ಟೇ ರ್ಬಹಿರ್ಭೂತೇನ ಶ್ರೇಷ್ಠೇನ ಸಿದ್ಧೇನ ಚ ದೂಷ್ಯೇಣ ಗತ್ವಾ
12 Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. (aiōnios g166)
ಛಾಗಾನಾಂ ಗೋವತ್ಸಾನಾಂ ವಾ ರುಧಿರಮ್ ಅನಾದಾಯ ಸ್ವೀಯರುಧಿರಮ್ ಆದಾಯೈಕಕೃತ್ವ ಏವ ಮಹಾಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಂ ಪ್ರವಿಶ್ಯಾನನ್ತಕಾಲಿಕಾಂ ಮುಕ್ತಿಂ ಪ್ರಾಪ್ತವಾನ್| (aiōnios g166)
13 Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri;
ವೃಷಛಾಗಾನಾಂ ರುಧಿರೇಣ ಗವೀಭಸ್ಮನಃ ಪ್ರಕ್ಷೇಪೇಣ ಚ ಯದ್ಯಶುಚಿಲೋಕಾಃ ಶಾರೀರಿಶುಚಿತ್ವಾಯ ಪೂಯನ್ತೇ,
14 omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu? (aiōnios g166)
ತರ್ಹಿ ಕಿಂ ಮನ್ಯಧ್ವೇ ಯಃ ಸದಾತನೇನಾತ್ಮನಾ ನಿಷ್ಕಲಙ್ಕಬಲಿಮಿವ ಸ್ವಮೇವೇಶ್ವರಾಯ ದತ್ತವಾನ್, ತಸ್ಯ ಖ್ರೀಷ್ಟಸ್ಯ ರುಧಿರೇಣ ಯುಷ್ಮಾಕಂ ಮನಾಂಸ್ಯಮರೇಶ್ವರಸ್ಯ ಸೇವಾಯೈ ಕಿಂ ಮೃತ್ಯುಜನಕೇಭ್ಯಃ ಕರ್ಮ್ಮಭ್ಯೋ ನ ಪವಿತ್ರೀಕಾರಿಷ್ಯನ್ತೇ? (aiōnios g166)
15 Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo. (aiōnios g166)
ಸ ನೂತನನಿಯಮಸ್ಯ ಮಧ್ಯಸ್ಥೋಽಭವತ್ ತಸ್ಯಾಭಿಪ್ರಾಯೋಽಯಂ ಯತ್ ಪ್ರಥಮನಿಯಮಲಙ್ಘನರೂಪಪಾಪೇಭ್ಯೋ ಮೃತ್ಯುನಾ ಮುಕ್ತೌ ಜಾತಾಯಾಮ್ ಆಹೂತಲೋಕಾ ಅನನ್ತಕಾಲೀಯಸಮ್ಪದಃ ಪ್ರತಿಜ್ಞಾಫಲಂ ಲಭೇರನ್| (aiōnios g166)
16 Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa.
ಯತ್ರ ನಿಯಮೋ ಭವತಿ ತತ್ರ ನಿಯಮಸಾಧಕಸ್ಯ ಬಲೇ ರ್ಮೃತ್ಯುನಾ ಭವಿತವ್ಯಂ|
17 Kubanga kikola ng’eyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bw’aba ng’akyali mulamu.
ಯತೋ ಹತೇನ ಬಲಿನಾ ನಿಯಮಃ ಸ್ಥಿರೀಭವತಿ ಕಿನ್ತು ನಿಯಮಸಾಧಕೋ ಬಲಿ ರ್ಯಾವತ್ ಜೀವತಿ ತಾವತ್ ನಿಯಮೋ ನಿರರ್ಥಕಸ್ತಿಷ್ಠತಿ|
18 Era n’endagaano ey’olubereberye teyakolebwa awatali musaayi.
ತಸ್ಮಾತ್ ಸ ಪೂರ್ವ್ವನಿಯಮೋಽಪಿ ರುಧಿರಪಾತಂ ವಿನಾ ನ ಸಾಧಿತಃ|
19 Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu.
ಫಲತಃ ಸರ್ವ್ವಲೋಕಾನ್ ಪ್ರತಿ ವ್ಯವಸ್ಥಾನುಸಾರೇಣ ಸರ್ವ್ವಾ ಆಜ್ಞಾಃ ಕಥಯಿತ್ವಾ ಮೂಸಾ ಜಲೇನ ಸಿನ್ದೂರವರ್ಣಲೋಮ್ನಾ ಏಷೋವತೃಣೇನ ಚ ಸಾರ್ದ್ಧಂ ಗೋವತ್ಸಾನಾಂ ಛಾಗಾನಾಞ್ಚ ರುಧಿರಂ ಗೃಹೀತ್ವಾ ಗ್ರನ್ಥೇ ಸರ್ವ್ವಲೋಕೇಷು ಚ ಪ್ರಕ್ಷಿಪ್ಯ ಬಭಾಷೇ,
20 N’ayogera nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira okukwata.”
ಯುಷ್ಮಾನ್ ಅಧೀಶ್ವರೋ ಯಂ ನಿಯಮಂ ನಿರೂಪಿತವಾನ್ ತಸ್ಯ ರುಧಿರಮೇತತ್|
21 Era bw’atyo n’amansira ne ku weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza.
ತದ್ವತ್ ಸ ದೂಷ್ಯೇಽಪಿ ಸೇವಾರ್ಥಕೇಷು ಸರ್ವ್ವಪಾತ್ರೇಷು ಚ ರುಧಿರಂ ಪ್ರಕ್ಷಿಪ್ತವಾನ್|
22 Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.
ಅಪರಂ ವ್ಯವಸ್ಥಾನುಸಾರೇಣ ಪ್ರಾಯಶಃ ಸರ್ವ್ವಾಣಿ ರುಧಿರೇಣ ಪರಿಷ್ಕ್ರಿಯನ್ತೇ ರುಧಿರಪಾತಂ ವಿನಾ ಪಾಪಮೋಚನಂ ನ ಭವತಿ ಚ|
23 Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo.
ಅಪರಂ ಯಾನಿ ಸ್ವರ್ಗೀಯವಸ್ತೂನಾಂ ದೃಷ್ಟಾನ್ತಾಸ್ತೇಷಾಮ್ ಏತೈಃ ಪಾವನಮ್ ಆವಶ್ಯಕಮ್ ಆಸೀತ್ ಕಿನ್ತು ಸಾಕ್ಷಾತ್ ಸ್ವರ್ಗೀಯವಸ್ತೂನಾಮ್ ಏತೇಭ್ಯಃ ಶ್ರೇಷ್ಠೇ ರ್ಬಲಿದಾನೈಃ ಪಾವನಮಾವಶ್ಯಕಂ|
24 Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
ಯತಃ ಖ್ರೀಷ್ಟಃ ಸತ್ಯಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಸ್ಯ ದೃಷ್ಟಾನ್ತರೂಪಂ ಹಸ್ತಕೃತಂ ಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಂ ನ ಪ್ರವಿಷ್ಟವಾನ್ ಕಿನ್ತ್ವಸ್ಮನ್ನಿಮಿತ್ತಮ್ ಇದಾನೀಮ್ ಈಶ್ವರಸ್ಯ ಸಾಕ್ಷಾದ್ ಉಪಸ್ಥಾತುಂ ಸ್ವರ್ಗಮೇವ ಪ್ರವಿಷ್ಟಃ|
25 Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe,
ಯಥಾ ಚ ಮಹಾಯಾಜಕಃ ಪ್ರತಿವರ್ಷಂ ಪರಶೋಣಿತಮಾದಾಯ ಮಹಾಪವಿತ್ರಸ್ಥಾನಂ ಪ್ರವಿಶತಿ ತಥಾ ಖ್ರೀಷ್ಟೇನ ಪುನಃ ಪುನರಾತ್ಮೋತ್ಸರ್ಗೋ ನ ಕರ್ತ್ತವ್ಯಃ,
26 kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. (aiōn g165)
ಕರ್ತ್ತವ್ಯೇ ಸತಿ ಜಗತಃ ಸೃಷ್ಟಿಕಾಲಮಾರಭ್ಯ ಬಹುವಾರಂ ತಸ್ಯ ಮೃತ್ಯುಭೋಗ ಆವಶ್ಯಕೋಽಭವತ್; ಕಿನ್ತ್ವಿದಾನೀಂ ಸ ಆತ್ಮೋತ್ಸರ್ಗೇಣ ಪಾಪನಾಶಾರ್ಥಮ್ ಏಕಕೃತ್ವೋ ಜಗತಃ ಶೇಷಕಾಲೇ ಪ್ರಚಕಾಶೇ| (aiōn g165)
27 Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,
ಅಪರಂ ಯಥಾ ಮಾನುಷಸ್ಯೈಕಕೃತ್ವೋ ಮರಣಂ ತತ್ ಪಶ್ಚಾದ್ ವಿಚಾರೋ ನಿರೂಪಿತೋಽಸ್ತಿ,
28 era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.
ತದ್ವತ್ ಖ್ರೀಷ್ಟೋಽಪಿ ಬಹೂನಾಂ ಪಾಪವಹನಾರ್ಥಂ ಬಲಿರೂಪೇಣೈಕಕೃತ್ವ ಉತ್ಸಸೃಜೇ, ಅಪರಂ ದ್ವಿತೀಯವಾರಂ ಪಾಪಾದ್ ಭಿನ್ನಃ ಸನ್ ಯೇ ತಂ ಪ್ರತೀಕ್ಷನ್ತೇ ತೇಷಾಂ ಪರಿತ್ರಾಣಾರ್ಥಂ ದರ್ಶನಂ ದಾಸ್ಯತಿ|

< Abaebbulaniya 9 >