< Abaebbulaniya 8 >
1 Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
Capitulum autem super ea, quæ dicuntur: Talem habemus Pontificem, qui consedit in dextera sedis magnitudinis in cælis,
2 omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
sanctorum minister, et tabernaculi veri, quod fixit Dominus, et non homo.
3 Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo.
Omnis enim pontifex ad offerendum munera, et hostias constituitur: unde necesse est et hunc habere aliquid, quod offerat:
4 Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira.
si ergo esset super terram, nec esset sacerdos: cum essent qui offerent secundum legem munera,
5 Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.”
qui exemplari, et umbræ deserviunt cælestium. Sicut responsum est Moysi, cum consummaret tabernaculum: Vide (inquit) omnia facito secundum exemplar, quod tibi ostensum est in monte.
6 Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
Nunc autem melius sortitus est ministerium, quanto et melioris testamenti mediator est, quod in melioribus repromissionibus sancitum est.
7 Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri.
Nam si illud prius culpa vacasset: non utique secundi locus inquireretur.
8 Kubanga bw’abanenya ayogera nti, “Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri, awamu n’ennyumba ya Yuda.
Vituperans enim eos dicit: Ecce dies venient, dicit Dominus: et consummabo super domum Israel, et super domum Iuda testamentum novum,
9 Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri. Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange, nange ssaabassaako mwoyo,” bw’ayogera Mukama.
non secundum testamentum, quod feci patribus eorum in die, qua apprehendi manum eorum ut educerem illos de Terra Ægypti: quoniam ipsi non permanserunt in testamento meo: et ego neglexi eos, dicit Dominus:
10 “Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe, nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
Quia hoc est testamentum, quod disponam domui Israel post dies illos, dicit Dominus: Dando leges meas in mentem eorum, et in corde eorum superscribam eas: et ero eis in Deum, et ipsi erunt mihi in populum:
11 Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu bonna balimmanya.
et non docebit unusquisque proximum suum, et unusquisque fratrem suum, dicens: Cognosce Dominum: quoniam omnes scient me a minore usque ad maiorem eorum:
12 Era ndibasaasira, n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”
quia propitius ero iniquitatibus eorum, et peccatorum eorum iam non memorabor.
13 Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.
Dicendo autem novum: veteravit prius. Quod autem antiquatur, et senescit, prope interitum est.