< Abaebbulaniya 5 >

1 Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe.
For every high priest taken from among men is ordained for men in things [pertaining] to God, that he may offer both gifts and sacrifices for sins:
2 Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.
Who can have compassion on the ignorant, and on them that are out of the way; for that he himself also is compassed with infirmity.
3 Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.
And by reason hereof he ought, as for the people, so also for himself, to offer for sins.
4 Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.
And no man taketh this honour unto himself, but he that is called of God, as [was] Aaron.
5 Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti, “Ggwe oli Mwana wange, leero nkuzadde ggwe.”
So also Christ glorified not himself to be made an high priest; but he that said unto him, Thou art my Son, to day have I begotten thee.
6 Era n’awalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.” (aiōn g165)
As he saith also in another [place], Thou [art] a priest for ever after the order of Melchisedec. (aiōn g165)
7 Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe.
Who in the days of his flesh, when he had offered up prayers and supplications with strong crying and tears unto him that was able to save him from death, and was heard in that he feared;
8 Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.
Though he were a Son, yet learned he obedience by the things which he suffered;
9 Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. (aiōnios g166)
And being made perfect, he became the author of eternal salvation unto all them that obey him; (aiōnios g166)
10 Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Called of God an high priest after the order of Melchisedec.
11 Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.
Of whom we have many things to say, and hard to be uttered, seeing ye are dull of hearing.
12 Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.
For when for the time ye ought to be teachers, ye have need that one teach you again which [be] the first principles of the oracles of God; and are become such as have need of milk, and not of strong meat.
13 Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu.
For every one that useth milk [is] unskilful in the word of righteousness: for he is a babe.
14 Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.
But strong meat belongeth to them that are of full age, [even] those who by reason of use have their senses exercised to discern both good and evil.

< Abaebbulaniya 5 >