< Abaebbulaniya 3 >

1 Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.
Ὅθεν, ἀδελφοὶ ἅγιοι, κλήσεως ἐπουρανίου μέτοχοι, κατανοήσατε τὸν ἀπόστολον καὶ ἀρχιερέα τῆς ὁμολογίας ἡμῶν Ἰησοῦν,
2 Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
πιστὸν ὄντα τῷ ποιήσαντι αὐτόν, ὡς καὶ Μωυσῆς ἐν ὅλῳ τῷ οἴκῳ αὐτοῦ.
3 Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa.
πλείονος γὰρ οὗτος δόξης παρὰ Μωυσῆν ἠξίωται, καθ᾽ ὅσον πλείονα τιμὴν ἔχει τοῦ οἴκου ὁ κατασκευάσας αὐτόν·
4 Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu.
πᾶς γὰρ οἶκος κατασκευάζεται ὑπό τινος, ὁ δὲ πάντα κατασκευάσας, θεός.
5 Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso.
καὶ Μωυσῆς μὲν πιστὸς ἐν ὅλῳ τῷ οἴκῳ αὐτοῦ, ὡς θεράπων, εἰς μαρτύριον τῶν λαληθησομένων,
6 Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
χριστὸς δέ, ὡς υἱὸς ἐπὶ τὸν οἶκον αὐτοῦ, οὗ οἶκός ἐσμεν ἡμεῖς, ἐὰν τὴν παῤῥησίαν καὶ τὸ καύχημα τῆς ἐλπίδος μέχρι τέλους βεβαίαν κατάσχωμεν.
7 Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Διό, καθὼς λέγει τὸ πνεῦμα τὸ ἅγιον, Σήμερον ἐὰν τῆς φωνῆς αὐτοῦ ἀκούσητε,
8 temukakanyaza mitima gyammwe, nga bali bwe baajeema, ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
μὴ σκληρύνητε τὰς καρδίας ὑμῶν, ὡς ἐν τῷ παραπικρασμῷ, κατὰ τὴν ἡμέραν τοῦ πειρασμοῦ ἐν τῇ ἐρήμῳ,
9 Bajjajjammwe bangezesa, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
οὗ ἐπείρασαν οἱ πατέρες ὑμῶν, ἐν δοκιμασίᾳ, καὶ εἶδον τὰ ἔργα μου
10 Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe, era tebamanyi makubo gange.
τεσσεράκοντα ἔτη· διὸ προσώχθισα τῇ γενεᾷ ταύτῃ, καὶ εἶπον, Ἀεὶ πλανῶνται τῇ καρδίᾳ· αὐτοὶ δὲ οὐκ ἔγνωσαν τὰς ὁδούς μου·
11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”
ὡς ὤμοσα ἐν τῇ ὀργῇ μου, Εἰ εἰσελεύσονται εἰς τὴν κατάπαυσίν μου·
12 Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.
βλέπετε, ἀδελφοί, μή ποτε ἔσται ἔν τινι ὑμῶν καρδία πονηρὰ ἀπιστίας, ἐν τῷ ἀποστῆναι ἀπὸ θεοῦ ζῶντος·
13 Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi.
ἀλλὰ παρακαλεῖτε ἑαυτοὺς καθ᾽ ἑκάστην ἡμέραν, ἄχρις οὗ τὸ σήμερον καλεῖται, ἵνα μὴ σκληρυνθῇ τις ἐξ ὑμῶν ἀπάτῃ τῆς ἁμαρτίας·
14 Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero.
μέτοχοι γὰρ τοῦ χριστοῦ γεγόναμεν, ἐάν περ τὴν ἀρχὴν τῆς ὑποστάσεως μέχρι τέλους βεβαίαν κατάσχωμεν·
15 Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
ἐν τῷ λέγεσθαι, Σήμερον ἐὰν τῆς φωνῆς αὐτοῦ ἀκούσητε, μὴ σκληρύνητε τὰς καρδίας ὑμῶν, ὡς ἐν τῷ παραπικρασμῷ.
16 Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
τίνες γὰρ ἀκούσαντες παρεπίκραναν; ἀλλ᾽ οὐ πάντες οἱ ἐξελθόντες ἐξ Αἰγύπτου διὰ Μωυσέως;
17 Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu?
τίσιν δὲ προσώχθισεν τεσσεράκοντα ἔτη; οὐχὶ τοῖς ἁμαρτήσασιν, ὧν τὰ κῶλα ἔπεσεν ἐν τῇ ἐρήμῳ;
18 Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda?
τίσιν δὲ ὤμοσεν μὴ εἰσελεύσεσθαι εἰς τὴν κατάπαυσιν αὐτοῦ, εἰ μὴ τοῖς ἀπει θήσασιν;
19 Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
καὶ βλέπομεν ὅτι οὐκ ἠδυνήθησαν εἰσελθεῖν δι᾽ ἀπιστίαν.

< Abaebbulaniya 3 >