< Abaebbulaniya 2 >
1 Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako.
Propterea abundantius oportet observare nos ea, quæ audivimus ne forte pereffluamus.
2 Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira,
Si enim qui per Angelos dictus est sermo, factus est firmus, et omnis prævaricatio, et inobedientia accepit iustam mercedis retributionem:
3 ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.
quomodo nos effugiemus si tantam neglexerimus salutem? Quæ cum initium accepisset enarrari per Dominum ab eis, qui audierunt, in nos confirmata est,
4 Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
contestante Deo signis et portentis, et variis virtutibus, et Spiritus Sancti distributionibus secundum suam voluntatem.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika.
Non enim Angelis subiecit Deus orbem terræ futurum, de quo loquimur.
6 Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Testatus est autem in quodam loco quis, dicens: Quid est homo quod memor es eius, aut Filius hominis quoniam visitas eum?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono, wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
Minuisti eum paulo minus ab Angelis: gloria et honore coronasti eum: et constituisti eum super opera manuum tuarum.
8 n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.” Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
Omnia subiecisti sub pedibus eius: In eo enim quod omnia ei subiecit, nihil dimisit non subiectum ei. Nunc autem necdum videmus omnia subiecta ei.
9 Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
Eum autem, qui modico quam Angeli minoratus est, videmus Iesum propter passionem mortis, gloria et honore coronatum: ut gratia Dei, pro omnibus gustaret mortem.
10 Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.
Decebat enim eum, propter quem omnia, et per quem omnia, qui multos filios in gloriam adduxerat, auctorem salutis eorum per passionem consummare.
11 Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.
Qui enim sanctificat, et qui sanctificantur, ex uno omnes. Propter quam causam non confunditur fratres eos vocare, dicens:
12 Agamba nti, “Nditegeeza baganda bange erinnya lyo, era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
Nunciabo nomen tuum fratribus meis: in medio Ecclesiæ laudabo te.
13 Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Ate ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
Et iterum: Ego ero fidens in eum. Et iterum: Ecce ego, et pueri mei, quos dedit mihi Deus.
14 Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani.
Quia ergo pueri communicaverunt carni, et sanguini, et ipse similiter participavit eisdem: ut per mortem destrueret eum, qui habebat mortis imperium, id est, diabolum:
15 Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa.
et liberaret eos, qui timore mortis per totam vitam obnoxii erant servituti.
16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu.
Nusquam enim Angelos apprehendit, sed semen Abrahæ apprehendit.
17 Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu.
Unde debuit per omnia fratribus similari, ut misericors fieret, et fidelis Pontifex ad Deum, ut repropitiaret delicta populi.
18 Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
In eo enim, in quo passus est ipse et tentatus, potens est et eis, qui tentantur, auxiliari.