< Abaebbulaniya 1 >

1 Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi;
God, having in the past spoken to the fathers through the prophets at many times and in various ways,
2 naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. (aiōn g165)
in these last days has spoken to us by a Son, whom he appointed heir of all things, through whom also he made the ages. (aiōn g165)
3 Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.
He is the radiance of his glory, the very image of his substance, and upholding all things by the word of his power, when he had made purification for sins, sat down on the right hand of the Majesty on high;
4 Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
having become so much better than the angels, as he has inherited a more excellent name than they have.
5 Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
For to which of the angels did he say at any time, "You are my Son. Today I have become your Father"? And again, "I will be his Father, and he will be my Son"?
6 Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
And again, when he brings in the firstborn into the world he says, "Let all the angels of God worship him."
7 Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ng’empewo, n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
Of the angels he says, "Who makes his angels winds, and his servants a flame of fire."
8 Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo. (aiōn g165)
But of the Son he says, "Your throne, O God, is forever and ever, and the righteous scepter is the scepter of your Kingdom. (aiōn g165)
9 Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
You have loved righteousness, and hated iniquity; therefore God, your God, has anointed you with the oil of gladness above your companions."
10 Ayongera n’agamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi, era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
And, "In the beginning, Lord, you established the foundation of the earth. The heavens are the works of your hands.
11 Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
They will perish, but you remain; and they will all wear out like a garment.
12 Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so n’emyaka gyo tegirikoma.”
As a cloak, you will roll them up, and like a garment they will be changed. But you remain the same, and your years will have no end."
13 Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
But which of the angels has he told at any time, "Sit at my right hand, until I make your enemies the footstool of your feet?"
14 Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
Are they not all ministering spirits, sent out to do service for the sake of those who will inherit salvation?

< Abaebbulaniya 1 >