< Kaabakuuku 1 >

1 Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
המשא אשר חזה חבקוק הנביא
2 Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira naye nga tompuliriza? Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,” naye n’otonnyamba?
עד אנה יהוה שועתי ולא תשמע אזעק אליך חמס ולא תושיע
3 Lwaki ondaga obutali bwenkanya era lwaki ogumiikiriza obukyamu? Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange, empaka n’ennyombo byeyongede.
למה תראני און ועמל תביט ושד וחמס לנגדי ויהי ריב ומדון ישא
4 Amateeka kyegavudde gatagonderwa era n’obwenkanya ne butakolebwa. Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde, n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
על כן תפוג תורה ולא יצא לנצח משפט כי רשע מכתיר את הצדיק על כן יצא משפט מעקל
5 “Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo. Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newaakubadde nga mugubuuliddwa.
ראו בגוים והביטו והתמהו תמהו כי פעל פעל בימיכם לא תאמינו כי יספר
6 Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya, eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe, ababunye ensi eno n’eri nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
כי הנני מקים את הכשדים הגוי המר והנמהר ההולך למרחבי ארץ לרשת משכנות לא לו
7 Ba ntiisa, batiibwa, be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola, nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
אים ונורא הוא ממנו משפטו ושאתו יצא
8 Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo, era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro. Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala era bajja beesaasaanyizza ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
וקלו מנמרים סוסיו וחדו מזאבי ערב ופשו פרשיו ופרשיו מרחוק יבאו--יעפו כנשר חש לאכול
9 Bajja n’eryanyi bonna, ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu; ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
כלה לחמס יבוא מגמת פניהם קדימה ויאסף כחול שבי
10 Weewaawo, basekerera bakabaka ne baduulira n’abakungu. Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
והוא במלכים יתקלס ורזנים משחק לו הוא לכל מבצר ישחק ויצבר עפר וילכדה
11 Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga; abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
אז חלף רוח ויעבר ואשם זו כחו לאלהו
12 Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe, ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango. Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
הלוא אתה מקדם יהוה אלהי קדשי--לא נמות יהוה למשפט שמתו וצור להוכיח יסדתו
13 Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe, n’osirika ng’omubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
טהור עינים מראות רע והביט אל עמל לא תוכל למה תביט בוגדים--תחריש בבלע רשע צדיק ממנו
14 Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja, ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
ותעשה אדם כדגי הים--כרמש לא משל בו
15 Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo, oluusi n’abawalula mu katimba ke, n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
כלה בחכה העלה--יגרהו בחרמו ויאספהו במכמרתו על כן ישמח ויגיל
16 Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane; akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya, n’alya emmere ey’ekigagga.
על כן יזבח לחרמו ויקטר למכמרתו כי בהמה שמן חלקו ומאכלו בראה
17 Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe, n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?
העל כן יריק חרמו ותמיד להרג גוים לא יחמול

< Kaabakuuku 1 >