< Olubereberye 9 >

1 Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
神赐福给挪亚和他的儿子,对他们说:“你们要生养众多,遍满了地。
2 Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
凡地上的走兽和空中的飞鸟都必惊恐,惧怕你们,连地上一切的昆虫并海里一切的鱼都交付你们的手。
3 Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
凡活着的动物都可以作你们的食物。这一切我都赐给你们,如同菜蔬一样。
4 “Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo.
惟独肉带着血,那就是它的生命,你们不可吃。
5 Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
流你们血、害你们命的,无论是兽是人,我必讨他的罪,就是向各人的弟兄也是如此。
6 “Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
凡流人血的,他的血也必被人所流,因为 神造人是照自己的形象造的。
7 Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
你们要生养众多,在地上昌盛繁茂。”
8 Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali
神晓谕挪亚和他的儿子说:
9 nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe,
“我与你们和你们的后裔立约,
10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi.
并与你们这里的一切活物—就是飞鸟、牲畜、走兽,凡从方舟里出来的活物—立约。
11 Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
我与你们立约,凡有血肉的,不再被洪水灭绝,也不再有洪水毁坏地了。”
12 Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo.
神说:“我与你们并你们这里的各样活物所立的永约是有记号的。
13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
我把虹放在云彩中,这就可作我与地立约的记号了。
14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire,
我使云彩盖地的时候,必有虹现在云彩中,
15 ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.
我便记念我与你们和各样有血肉的活物所立的约,水就再不泛滥、毁坏一切有血肉的物了。
16 Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
虹必现在云彩中,我看见,就要记念我与地上各样有血肉的活物所立的永约。”
17 Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
神对挪亚说:“这就是我与地上一切有血肉之物立约的记号了。”
18 Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
出方舟挪亚的儿子就是闪、含、雅弗。含是迦南的父亲。
19 Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
这是挪亚的三个儿子,他们的后裔分散在全地。
20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu;
挪亚作起农夫来,栽了一个葡萄园。
21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere.
他喝了园中的酒便醉了,在帐棚里赤着身子。
22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru.
迦南的父亲含看见他父亲赤身,就到外边告诉他两个弟兄。
23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
于是闪和雅弗拿件衣服搭在肩上,倒退着进去,给他父亲盖上;他们背着脸就看不见父亲的赤身。
24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
挪亚醒了酒,知道小儿子向他所做的事,
25 N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, “Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
就说: 迦南当受咒诅, 必给他弟兄作奴仆的奴仆;
26 Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.”
又说: 耶和华—闪的 神是应当称颂的! 愿迦南作闪的奴仆。
27 Katonda yaza Yafeesi, abeere mu weema za Seemu, Kanani abeere muddu we.
愿 神使雅弗扩张, 使他住在闪的帐棚里; 又愿迦南作他的奴仆。
28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
洪水以后,挪亚又活了三百五十年。
29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
挪亚共活了九百五十岁就死了。

< Olubereberye 9 >