< Olubereberye 8 >

1 Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera;
ויזכר אלהים את נח ואת כל החיה ואת כל הבהמה אשר אתו בתבה ויעבר אלהים רוח על הארץ וישכו המים׃
2 ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa,
ויסכרו מעינת תהום וארבת השמים ויכלא הגשם מן השמים׃
3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde;
וישבו המים מעל הארץ הלוך ושוב ויחסרו המים מקצה חמשים ומאת יום׃
4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati.
ותנח התבה בחדש השביעי בשבעה עשר יום לחדש על הרי אררט׃
5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
והמים היו הלוך וחסור עד החדש העשירי בעשירי באחד לחדש נראו ראשי ההרים׃
6 Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato
ויהי מקץ ארבעים יום ויפתח נח את חלון התבה אשר עשה׃
7 n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira.
וישלח את הערב ויצא יצוא ושוב עד יבשת המים מעל הארץ׃
8 Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi;
וישלח את היונה מאתו לראות הקלו המים מעל פני האדמה׃
9 naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato.
ולא מצאה היונה מנוח לכף רגלה ותשב אליו אל התבה כי מים על פני כל הארץ וישלח ידו ויקחה ויבא אתה אליו אל התבה׃
10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato;
ויחל עוד שבעת ימים אחרים ויסף שלח את היונה מן התבה׃
11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi.
ותבא אליו היונה לעת ערב והנה עלה זית טרף בפיה וידע נח כי קלו המים מעל הארץ׃
12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
וייחל עוד שבעת ימים אחרים וישלח את היונה ולא יספה שוב אליו עוד׃
13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde.
ויהי באחת ושש מאות שנה בראשון באחד לחדש חרבו המים מעל הארץ ויסר נח את מכסה התבה וירא והנה חרבו פני האדמה׃
14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
ובחדש השני בשבעה ועשרים יום לחדש יבשה הארץ׃
15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti,
וידבר אלהים אל נח לאמר׃
16 “Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe.
צא מן התבה אתה ואשתך ובניך ונשי בניך אתך׃
17 Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
כל החיה אשר אתך מכל בשר בעוף ובבהמה ובכל הרמש הרמש על הארץ הוצא אתך ושרצו בארץ ופרו ורבו על הארץ׃
18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be.
ויצא נח ובניו ואשתו ונשי בניו אתו׃
19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
כל החיה כל הרמש וכל העוף כל רומש על הארץ למשפחתיהם יצאו מן התבה׃
20 Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
ויבן נח מזבח ליהוה ויקח מכל הבהמה הטהורה ומכל העוף הטהר ויעל עלת במזבח׃
21 Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
וירח יהוה את ריח הניחח ויאמר יהוה אל לבו לא אסף לקלל עוד את האדמה בעבור האדם כי יצר לב האדם רע מנעריו ולא אסף עוד להכות את כל חי כאשר עשיתי׃
22 “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.”
עד כל ימי הארץ זרע וקציר וקר וחם וקיץ וחרף ויום ולילה לא ישבתו׃

< Olubereberye 8 >

A Dove is Sent Forth from the Ark
A Dove is Sent Forth from the Ark