< Olubereberye 6 >

1 Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala.
人が地のおもてにふえ始めて、娘たちが彼らに生れた時、
2 Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera.
神の子たちは人の娘たちの美しいのを見て、自分の好む者を妻にめとった。
3 Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
そこで主は言われた、「わたしの霊はながく人の中にとどまらない。彼は肉にすぎないのだ。しかし、彼の年は百二十年であろう」。
4 Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
そのころ、またその後にも、地にネピリムがいた。これは神の子たちが人の娘たちのところにはいって、娘たちに産ませたものである。彼らは昔の勇士であり、有名な人々であった。
5 Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna.
主は人の悪が地にはびこり、すべてその心に思いはかることが、いつも悪い事ばかりであるのを見られた。
6 Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe.
主は地の上に人を造ったのを悔いて、心を痛め、
7 Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
「わたしが創造した人を地のおもてからぬぐい去ろう。人も獣も、這うものも、空の鳥までも。わたしは、これらを造ったことを悔いる」と言われた。
8 Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
しかし、ノアは主の前に恵みを得た。
9 Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda.
ノアの系図は次のとおりである。ノアはその時代の人々の中で正しく、かつ全き人であった。ノアは神とともに歩んだ。
10 Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
ノアはセム、ハム、ヤペテの三人の子を生んだ。
11 Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu.
時に世は神の前に乱れて、暴虐が地に満ちた。
12 Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu.
神が地を見られると、それは乱れていた。すべての人が地の上でその道を乱したからである。
13 Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
そこで神はノアに言われた、「わたしは、すべての人を絶やそうと決心した。彼らは地を暴虐で満たしたから、わたしは彼らを地とともに滅ぼそう。
14 Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu.
あなたは、いとすぎの木で箱舟を造り、箱舟の中にへやを設け、アスファルトでそのうちそとを塗りなさい。
15 Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
その造り方は次のとおりである。すなわち箱舟の長さは三百キュビト、幅は五十キュビト、高さは三十キュビトとし、
16 Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu.
箱舟に屋根を造り、上へ一キュビトにそれを仕上げ、また箱舟の戸口をその横に設けて、一階と二階と三階のある箱舟を造りなさい。
17 Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa.
わたしは地の上に洪水を送って、命の息のある肉なるものを、みな天の下から滅ぼし去る。地にあるものは、みな死に絶えるであろう。
18 Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
ただし、わたしはあなたと契約を結ぼう。あなたは子らと、妻と、子らの妻たちと共に箱舟にはいりなさい。
19 Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe.
またすべての生き物、すべての肉なるものの中から、それぞれ二つずつを箱舟に入れて、あなたと共にその命を保たせなさい。それらは雄と雌とでなければならない。
20 Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu.
すなわち、鳥はその種類にしたがい獣はその種類にしたがい、また地のすべての這うものも、その種類にしたがって、それぞれ二つずつ、あなたのところに入れて、命を保たせなさい。
21 Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”
また、すべての食物となるものをとって、あなたのところにたくわえ、あなたとこれらのものとの食物としなさい」。
22 Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
ノアはすべて神の命じられたようにした。

< Olubereberye 6 >

The World is Destroyed by Water
The World is Destroyed by Water