< Olubereberye 50 >
1 Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera.
2 Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri;
3 baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.
4 Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti,
5 ‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’”
6 Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”
7 Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna,
8 n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe.
9 N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.
10 Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu.
11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira.
13 Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be.
14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.
15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.”
16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti
17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
18 Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.”
19 Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda?
20 Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa.
21 Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.
22 Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi.
23 N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24 Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.”
25 Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
26 Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.