< Olubereberye 5 >

1 Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda.
זה ספר תולדת אדם ביום ברא אלהים אדם בדמות אלהים עשה אתו
2 Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”
זכר ונקבה בראם ויברך אתם ויקרא את שמם אדם ביום הבראם
3 Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi.
ויחי אדם שלשים ומאת שנה ויולד בדמותו כצלמו ויקרא את שמו שת
4 Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
ויהיו ימי אדם אחרי הולידו את שת שמנה מאת שנה ויולד בנים ובנות
5 Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.
ויהיו כל ימי אדם אשר חי תשע מאות שנה ושלשים שנה וימת
6 Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi.
ויחי שת חמש שנים ומאת שנה ויולד את אנוש
7 Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי שת אחרי הולידו את אנוש שבע שנים ושמנה מאות שנה ויולד בנים ובנות
8 Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.
ויהיו כל ימי שת שתים עשרה שנה ותשע מאות שנה וימת
9 Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani.
ויחי אנוש תשעים שנה ויולד את קינן
10 Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי אנוש אחרי הולידו את קינן חמש עשרה שנה ושמנה מאות שנה ויולד בנים ובנות
11 Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.
ויהיו כל ימי אנוש חמש שנים ותשע מאות שנה וימת
12 Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri.
ויחי קינן שבעים שנה ויולד את מהללאל
13 Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי קינן אחרי הולידו את מהללאל ארבעים שנה ושמנה מאות שנה ויולד בנים ובנות
14 Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.
ויהיו כל ימי קינן עשר שנים ותשע מאות שנה וימת
15 Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi.
ויחי מהללאל חמש שנים וששים שנה ויולד את ירד
16 Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי מהללאל אחרי הולידו את ירד שלשים שנה ושמנה מאות שנה ויולד בנים ובנות
17 Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.
ויהיו כל ימי מהללאל חמש ותשעים שנה ושמנה מאות שנה וימת
18 Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka.
ויחי ירד שתים וששים שנה ומאת שנה ויולד את חנוך
19 Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי ירד אחרי הולידו את חנוך שמנה מאות שנה ויולד בנים ובנות
20 Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.
ויהיו כל ימי ירד שתים וששים שנה ותשע מאות שנה וימת
21 Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera.
ויחי חנוך חמש וששים שנה ויולד את מתושלח
22 Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
ויתהלך חנוך את האלהים אחרי הולידו את מתושלח שלש מאות שנה ויולד בנים ובנות
23 Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano.
ויהי כל ימי חנוך חמש וששים שנה ושלש מאות שנה
24 Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.
ויתהלך חנוך את האלהים ואיננו כי לקח אתו אלהים
25 Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka.
ויחי מתושלח שבע ושמנים שנה ומאת שנה ויולד את למך
26 Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי מתושלח אחרי הולידו את למך שתים ושמונים שנה ושבע מאות שנה ויולד בנים ובנות
27 Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.
ויהיו כל ימי מתושלח תשע וששים שנה ותשע מאות שנה וימת
28 Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi
ויחי למך שתים ושמנים שנה ומאת שנה ויולד בן
29 n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
ויקרא את שמו נח לאמר זה ינחמנו ממעשנו ומעצבון ידינו מן האדמה אשר אררה יהוה
30 Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
ויחי למך אחרי הולידו את נח חמש ותשעים שנה וחמש מאת שנה ויולד בנים ובנות
31 Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.
ויהי כל ימי למך שבע ושבעים שנה ושבע מאות שנה וימת
32 Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
ויהי נח בן חמש מאות שנה ויולד נח את שם את חם ואת יפת

< Olubereberye 5 >