< Olubereberye 49 >

1 Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.
Jacob llamó a sus hijos y les dijo: Reúnanse y les declararé lo que les acontecerá en los días venideros.
2 Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo, muwulirize Isirayiri kitammwe.
Reúnanse y escuchen, hijos de Jacob, escuchen a su padre Israel:
3 Lewubeeni ggwe mubereberye wange, amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange, ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
Rubén, tú eres mi primogénito, Mi fuerza y primicia de mi vigor, Preeminente en dignidad, Preeminente en poder,
4 Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa, kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo, mu nnyumba yange, n’okyonoona.
Impetuoso como las aguas. No serás el principal, Pues subiste al lecho de tu padre y lo profanaste. ¡Él subió a mi lecho!
5 Simyoni ne Leevi baaluganda, ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
Simeón y Leví son hermanos, Sus armas son instrumentos de injusticia.
6 Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe. Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo. Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu, olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
En su consejo no entre mi alma, Ni mi espíritu se una a su asamblea, Pues en su furia asesinaron hombres, Y en su temeridad desjarretaron bueyes.
7 Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima. Ndibaawula mu Yakobo, ndibasaasaanya mu Isirayiri.
Maldita sea su cólera, que fue fiera, Y su furor, que fue cruel, Los dispersaré entre Jacob Y los esparciré entre Israel.
8 Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga. Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo. Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
Judá, te alabarán tus hermanos. Tu mano estará sobre el cuello de tus enemigos. Se inclinarán ante ti los hijos de tu padre.
9 Yuda, mwana w’empologoma. Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo. Yakutama, yabwama ng’empologoma. Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
Cachorro de león es Judá, De la presa subiste, hijo mío, Se agazapa y acecha como un león, Y como un león, ¿quién se atreve a despertarlo?
10 Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda, okutuusa Siiro lw’alijja; era oyo amawanga gonna gwe ganaawuliranga.
No será quitado el cetro de Judá, Ni el legislador de entre sus pies, Hasta que llegue Siloh, Y sea suya la obediencia de los pueblos.
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu, n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi, ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo, n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
Ata a la vid su pollino, Y a la cepa el pollino de su asna. Lava en vino su ropa, Y en sangre de uvas su manto.
12 Amaaso ge galimyuka wayini, n’amannyo ge galitukula okusinga amata.
Sus ojos están turbios por el vino, Y sus dientes blancos por la leche.
13 Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja; anaabanga mwalo gw’amaato, ensalo ze ziriba ku Sidoni.
Zabulón habitará en la costa de los mares. Él será puerto de navíos, Y su extremo llegará hasta Sidón.
14 Isakaali ndogoyi ya maanyi, ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
Isacar, asno robusto, Que se echa entre dos apriscos.
15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi; nga n’ensi esanyusa; n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula, n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.
Vio que el descanso era bueno Y la tierra placentera. Inclinó su hombro para cargar. Fue un esclavo de trabajo forzado.
16 Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
Dan juzgará a su pueblo, Como una de las tribus de Israel.
17 Ddaani anaaba musota mu kkubo, essalambwa ku kkubo, eriruma ebisinziiro by’embalaasi, omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.
Dan será serpiente junto al camino, Víbora junto al sendero, Que muerde los talones del caballo, Y su jinete cae hacia atrás.
18 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.
Espero tu salvación, oh Yavé.
19 Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi, naye ye, alibafubutukira emabega.
A Gad lo asaltarán salteadores, Pero él asaltará su retaguardia.
20 Aseri emmere ye eneebanga ngimu, era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.
El pan de Aser es sustancioso, Y él producirá deleites reales.
21 Nafutaali mpeewo ya ddembe, avaamu ebigambo ebirungi.
Neftalí es venada suelta Que dará hermosas crías.
22 Yusufu lye ttabi eribala ennyo, ettabi eribala ennyo eriri ku mugga; abaana be babuna bbugwe.
Retoño fructífero es José, Retoño fructífero junto a un manantial, Sus ramas trepan sobre el muro.
23 Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo, baamulasa ne bamulumya nnyo;
Lo amargaron, lo flecharon y lo aborrecieron los arqueros,
24 naye omutego gwe ne gunywera, n’emikono gye ne gitasagaasagana. Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo, olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
Pero su arco permaneció firme. Fueron fortalecidos los brazos de sus manos, Por las manos del Fuerte de Jacob. De allí es el Pastor, la Roca de Israel,
25 olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba, olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa, omukisa oguva waggulu mu ggulu, omukisa ogwa wansi mu buziba, omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
Por el ʼEL de tu padre, Quien te ayudará, Por ʼEL-Shadday, Quien te bendecirá Con bendiciones de los cielos arriba, Con bendiciones de las profundidades abajo, Con bendiciones de los pechos y de la matriz.
26 Omukisa gwa kitaawo gusinga omukisa gwa bajjajjange, gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda. Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu, gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.
Las bendiciones de tu padre Son mayores que las bendiciones de mis antepasados Hasta el límite extremo de las colinas eternas. Sean ellas sobre la cabeza de José, Y para la coronilla del príncipe entre sus hermanos.
27 Benyamini musege ogunyaga, mu makya alya omuyiggo, mu kawungeezi n’agaba omunyago.
Benjamín, lobo depredador, En la mañana devorará la presa, Y por la tarde repartirá despojos.
28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
Todas estas son las 12 tribus de Israel, y esto es lo que les predijo su padre al bendecirlos a cada uno según la bendición que le correspondió.
29 Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
Luego les dio instrucciones y les dijo: Yo voy a ser reunido a mi pueblo. Sepúltenme con mis antepasados en la cueva que está en el campo de Efrón el heteo,
30 mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu.
en la cueva que está frente a Mamre en el campo de la Macpela, en la tierra de Canaán, la cual Abraham compró con el campo de Efrón heteo, como propiedad para sepultura.
31 Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.
Allí sepultaron a Abraham y a su esposa Sara. Allí sepultaron a Isaac y a su esposa Rebeca, y allí sepulté yo a Lea.
32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”
El campo y la cueva que hay en él fueron comprados de los hijos de Het.
33 Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
Cuando Jacob concluyó de dar instrucciones a sus hijos, encogió sus pies en la cama y expiró. Y fue reunido a su pueblo.

< Olubereberye 49 >