< Olubereberye 46 >
1 Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2 Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?” N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
3 Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene.
4 Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
5 Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala.
6 Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye.
7 Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.
8 Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo: Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
9 ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
10 Ne batabani ba Simyoni: Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.
11 Ne batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
12 N’aba Yuda: Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Batabani ba Pereezi baali: Kezulooni ne Kamuli.
13 Bo aba Isakaali baali: Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.
14 Batabani ba Zebbulooni baali Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.
15 Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
16 Batabani ba Gaadi baali Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.
17 Bo batabani ba Aseri be bano: Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya awamu ne Seera mwannyinaabwe. Bo Batabani ba Beriya baali Keba ne Malukiyeeri.
18 Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
19 Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano Yusufu ne Benyamini.
20 Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
21 Ne batabani ba Benyamini be ba: Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.
22 Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
23 Mutabani wa Ddaani ye Kusimu.
24 Bo aba Nafutaali be ba: Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25 Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
26 Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga.
27 Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu.
28 Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni.
29 Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
31 Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi.
32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’
33 Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’
34 Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”