< Olubereberye 4 >

1 Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.”
亞當認識了自己的妻子厄娃,厄娃懷了孕,生了加音說:「我賴上主獲得了一個人。」
2 Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi.
以後她生了加音的弟弟亞伯爾;亞伯爾牧羊,加音耕田。
3 Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama.
有一天,加音把田地的出產作品獻給天主;
4 Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye.
同時亞伯爾獻上自己羊群中最肥美而又是首生的羊;上主惠顧了亞伯爾和他的祭品,
5 Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
卻沒有惠顧加音和他的祭品;因此加音大怒,垂頭喪氣。
6 Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
上主對加音說:「你為什麼發怒﹖為什麼垂頭喪氣﹖
7 Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
你若做得好,豈不也可仰起頭來﹖你若做得不好,罪惡就伏在你門前,企圖對付你,但你應制服它。」
8 Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
事後加音對他弟弟亞伯爾說:「我們到田間去! 」當他們在田間的時候,加音就襲擊了弟弟亞伯爾,將他殺死。
9 Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
上主對加音說:「你弟弟亞伯爾在那裏﹖」他答說:「我不知道,難道我是看守我弟弟的人﹖」
10 Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
上主說:「你作什麼事﹖聽! 你弟弟的血由地上向我喊冤。
11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.
你現在是地上所咒罵的人,地張開口由你手中接收了你弟弟的血,
12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”
從此你即使耕種,地也不會給你出產;你在地上要成個流離失所的人。」
13 Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola.
加音對上主說:「我的罪罰太重,無法承擔。
14 Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”
看你今天將我由這地面上驅逐,我該躲避你的面,在地上成了個流離失所的人;那麼凡遇見我的,必要殺我。」
15 Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta.
上主對他說:「決不這樣,凡殺加音的人,一定要受七倍的罰。」上主遂給加音一個記號,以免遇見他的人擊殺他。
16 Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.
加音就離開上主的面,住在伊甸東方的諾得地方。
17 Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka.
加音認識了自己的妻子,她懷了孕,生了哈諾客。加音建築了一座城,即以他兒子的名字,給這城起名叫「哈諾客。」
18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.
哈諾客生了依辣得;依辣得生了默胡雅耳;默胡雅耳生了默突沙耳;默突沙耳生了拉默客。
19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira.
拉默客娶了兩個妻子:一個名叫阿達,一個名叫漆拉。
20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda.
阿達生了雅巴耳,他是住在帳幕內畜牧者的始組。
21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere.
他的弟弟名叫猶巴耳,他是所有彈琴吹簫者的始祖。
22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.
同時漆拉也生了突巴耳加音,他是製造各種銅鐵器具的匠人。突巴耳加音有個姊妹名叫納阿瑪拉。
23 Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba.
默客對自己的妻子說:「阿達和漆拉傾聽我的聲音,拉默客的妻子,靜聆我的言語:因我受傷,殺了一成年;因我受損,殺了一青年;
24 Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
殺加音的受罰是七倍,殺拉默客的是七十七倍。」
25 Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.”
亞當又認識了自己的妻子,她生了個兒子,給他起名叫舍特說:「天主又賜給了我一個兒子,代替加音殺了的亞伯爾。」
26 Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.
舍特也生了一個兒子,給他起名叫厄諾士。那時人才開始呼求上主的名。

< Olubereberye 4 >