< Olubereberye 36 >
1 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.
エサウの傳はかくのごとしエサウはすなはちエドムなり
2 Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi,
エサウ、カナンの女の中より妻をめとれり即ちヘテ人エロンの女アダおよびヒビ人ヂベオンの女なるアナの女アホリバマ是なり
3 ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
又イシマエルの女ネバヨテの妹バスマテをめとれり
4 Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri;
アダはエリパズをエサウに生みバスマテはリウエルを生み
5 ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
アホリバマはヱウシ、ヤラムおよびコラを生り是等はエサウの子にしてカナンの地に於て彼に生れたる者なり
6 Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo.
エサウその妻と子女およびその家の諸の人並に家畜と諸の畜類およびそのカナンの地にて獲たる諸の物を挈へて弟ヤコブをはなれて他の地にゆけり
7 Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe.
其は二人の富有多くして倶にをるあたはざればなり彼らが寄寓しところの地はかれらの家畜のためにかれらを容るをえざりき
8 Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.
是に於てエサウ、セイル山に住りエサウはすなはちエドムなり
9 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.
セイル山にをりしエドミ人の先祖エサウの傳はかくのごとし
10 Batabani be baali: Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
エサウの子の名は左のごとしエサウの妻アダの子はエリパズ、エサウの妻バスマテの子はリウエル
11 Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
エリパズの子はテマン、オマル、ゼポ、ガタムおよびケナズなり
12 Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
テムナはエサウの子エリパズの妾にしてアマレクをエリパズに生り是等はエサウの妻アダの子なり
13 Bano be batabani ba Leweri: Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
リウエルの子は左の如しナハテ、ゼラ、シヤンマおよびミザ是等はエサウの妻バスマテの子なり
14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
ヂベオンの女なるアナの女にしてエサウの妻なるアホリバマの子は左のごとし彼ヱウシ、ヤラムおよびコラをエサウに生り
15 Bano be bakulu b’enda ya Esawu: Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu: Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi,
エサウの子孫の侯たる者は左のごとしエサウの冢子エリパスの子にはテマン侯オマル侯ゼボ侯ケナズ侯
16 ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
コラ侯ガタム侯アマレク侯是等はエリパズよりいでたる侯にしてエドムの地にありき是等はアダの子なり
17 Enda ya Leweri mutabani wa Esawu: Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
エサウの子リウエルの子は左のごとしナハテ侯ゼラ侯シヤンマ侯ミザ侯是等はリウエルよりいでたる侯にしてエドムの地にありき是等はエサウの妻バスマテの子なり
18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana: Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
エサウの妻アホリバマの子は左のごとしヱウシ侯ヤラム侯コラ侯是等はアナの女にしてエサウの妻なるアホリバマよりいでたる侯なり
19 Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.
是等はエサウすなはちエドムの子孫にしてその侯たる者なり
20 Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
素より此地に住しホリ人セイルの子は左のごとしロタン、シヨバル 、ヂベオン、アナ
21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
デシヨン、エゼル、デシヤン是等はセイルの子ホリ人の中の侯にしてエドムの地にあり
22 Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
ロタンの子はホリ、ヘマムなりロタンの妹はテムナ
23 Batabani ba Sobali be ba Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
シヨバルの子は左のごとしアルワン、マナハテ、エバル、シボ、オナム
24 Aba Zibyoni, be ba Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
ヂベオンの子は左のごとし即ちアヤとアナ此アナその父ヂベオンの驢馬を牧をりし時曠野にて温泉を發見り
25 Abaana ba Ana be ba Disoni ne Okolibama omuwala.
アナの子は左のごとしデシヨンおよびアホリバマ、アホリバマはアナの女なり
26 Bo batabani ba Disoni be ba Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
デシヨンの子は左のごとしヘムダン、エシバン、イテラン、ケラン
27 Aba Ezeri be ba Birani, ne Zaavani ne Akani.
エゼルの子は左のごとしビルハン、ザワン、ヤカン
28 Ate aba Disani be ba Uzi ne Alani.
デシヤンの子は左のごとしウズ、アラン
29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli: Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
ホリ人の侯たる者は左のごとしロタン侯シヨバル侯ヂベオン侯アナ侯
30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.
デシヨン侯エゼル侯デシヤン侯是等はホリ人の侯にしてその所領にしたがひてセイルの地にあり
31 Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
イスラエルの子孫を治むる王いまだあらざる前にエドムの地を治めたる王は左のごとし
32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
ベオルの子ベラ、エドムに王たりその都の名はデナバといふ
33 Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
ベラ薨てボヅラのゼラの子ヨバブ之にかはりて王となる
34 Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
ヨバブ薨てテマン人の地のホシヤムこれにかはりて王となる
35 Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
ホシヤム薨てベダデの子ハダデの子ハダこれに代て王となる彼モアブの野にてミデアン人を撃しことあり其邑の名はアビテといふ
36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
ハダデ薨てマスレカのサムラこれにかはりて王となる
37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
サラム薨て河の旁なるレホボテのサウル之にかはりて王となる
38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
サウル薨てアクボルの子バアルハナンこれに代りて王となる
39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
アクボルの子バアルハナン薨てハダル之にかはりて王となる其都の名はパウといふその妻の名はメヘタベルといひてマテレデの女なりマテレデはメザハブの女なり
40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe: Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
エサウよりいでたる侯の名はその宗族と居處と名に循ひていへば左のごとしテムナ侯アルワ侯エテテ侯
41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
アホリバマ侯エラ侯ピノン侯
42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
ケナズ侯テマン侯ミブザル侯
43 ne Magidiyeri, ne Iramu. Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.
マグデエル侯イラム侯是等はエドムの侯にして其領地の居處によりて言る者なりエドミ人の先祖はエサウ是なり