< Olubereberye 29 >
1 Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba.
Jacob partit, et il arriva au pays des fils de l'Orient.
2 Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene,
Il regarda et vit un puits dans un champ, et il vit trois troupeaux de moutons couchés près de ce puits. Car c'est de ce puits qu'on abreuvait les troupeaux. La pierre sur l'embouchure du puits était grande.
3 era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
Là, tous les troupeaux étaient rassemblés. Ils roulèrent la pierre de l'ouverture du puits, abreuvèrent les brebis, et remirent la pierre à sa place sur l'ouverture du puits.
4 Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
Jacob leur dit: « Mes parents, d'où venez-vous? » Ils ont dit: « Nous sommes de Haran. »
5 Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
Il leur dit: « Connaissez-vous Laban, fils de Nachor? » Ils ont dit: « On le connaît. »
6 N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
Il leur dit: « Est-ce qu'il se porte bien? » Ils ont dit: « C'est bien. Regarde, Rachel, sa fille, vient avec les brebis. »
7 N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
Il dit: « Voici, c'est encore le milieu du jour, ce n'est pas le moment de rassembler le bétail. Abreuve les brebis, et va les nourrir. »
8 Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
Ils dirent: « Nous ne pouvons pas, jusqu'à ce que tous les troupeaux soient rassemblés, et qu'ils roulent la pierre de la bouche du puits. Alors nous abreuverons les brebis. »
9 Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda.
Comme il parlait encore avec eux, Rachel arriva avec les brebis de son père, car elle les gardait.
10 Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani.
Lorsque Jacob vit Rachel, fille de Laban, frère de sa mère, et les brebis de Laban, frère de sa mère, il s'approcha, roula la pierre de l'ouverture du puits, et abreuva le troupeau de Laban, frère de sa mère.
11 Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
Jacob embrassa Rachel, éleva la voix et pleura.
12 Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.
Jacob dit à Rachel qu'il était parent de son père, et qu'il était le fils de Rebecca. Elle courut le dire à son père.
13 Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo.
Lorsque Laban apprit la nouvelle de Jacob, le fils de sa sœur, il courut à la rencontre de Jacob, l'embrassa, le baisa et le fit venir dans sa maison. Jacob raconta à Laban toutes ces choses.
14 Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”
Laban lui dit: « Certainement, tu es mon os et ma chair. » Jacob resta un mois avec lui.
15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
Laban dit à Jacob: « Puisque tu es mon parent, dois-tu me servir pour rien? Dis-moi, quel sera ton salaire? »
16 Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri.
Laban avait deux filles. Le nom de l'aînée était Léa, et le nom de la cadette était Rachel.
17 Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi.
Léa avait les yeux faibles, mais Rachel était belle de forme et séduisante.
18 Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”
Jacob aimait Rachel. Il dit: « Je te servirai sept ans pour Rachel, ta plus jeune fille. »
19 Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.”
Laban dit: « Il vaut mieux que je te la donne, que je la donne à un autre homme. Reste avec moi. »
20 Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.
Jacob a servi sept ans pour Rachel. Elles ne lui ont paru que quelques jours, à cause de l'amour qu'il lui portait.
21 Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”
Jacob dit à Laban: « Donne-moi ma femme, car mes jours sont accomplis, et je pourrai aller vers elle. »
22 Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga.
Laban rassembla tous les hommes du lieu, et fit un festin.
23 Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.
Le soir, il prit Léa, sa fille, et l'amena à Jacob. Il entra chez elle.
24 Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.
Laban donna pour servante à Léa, sa fille, Zilpa, sa servante.
25 Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?”
Le matin, voici que c'était Léa. Elle dit à Laban: « Qu'est-ce que tu m'as fait? N'ai-je pas servi avec toi pour Rachel? Pourquoi donc m'as-tu trompé? »
26 Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa.
Laban répondit: « Cela ne se fait pas chez nous, de donner le plus jeune avant le premier-né.
27 Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”
Accomplis la semaine de celui-ci, et nous te donnerons aussi l'autre pour le service que tu feras chez moi pendant sept autres années. »
28 Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we.
Jacob fit ainsi, et accomplit sa semaine. Il lui donna pour femme sa fille Rachel.
29 Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga.
Laban donna Bilha, sa servante, à sa fille Rachel, pour qu'elle la serve.
30 Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
Il alla aussi vers Rachel, qu'il aima plus que Léa, et il resta sept ans de plus à son service.
31 Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba.
Yahvé vit que Léa était haïe, et il lui ouvrit les entrailles, mais Rachel était stérile.
32 Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
Léa devint enceinte, et enfanta un fils, qu'elle appela Ruben. Car elle disait: « Parce que Yahvé a regardé mon affliction, maintenant mon mari m'aimera. »
33 N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.”
Elle conçut de nouveau et enfanta un fils, et elle dit: « Parce que Yahvé a entendu que je suis haïe, il m'a aussi donné ce fils. » Elle lui donna le nom de Siméon.
34 Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
Elle conçut de nouveau, et enfanta un fils. Elle dit: « Cette fois, mon mari s'attachera à moi, car je lui ai enfanté trois fils. » C'est pourquoi on lui donna le nom de Lévi.
35 Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.
Elle conçut de nouveau, et enfanta un fils. Elle dit: « Cette fois, je louerai Yahvé. » Elle lui donna donc le nom de Juda. Puis elle cessa d'enfanter.