< Olubereberye 27 >

1 Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
依撒格年紀已老,雙目失明,看不見了,遂叫了他的大兒厄撒烏來,對他說:「我兒! 」他回答說:「我在這裏。」
2 Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa.
他說:「你看,我已年老,不知道那天就死。
3 Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo.
現在你拿器械、箭囊和弓,往田間去打點獵物,
4 Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”
照我的嗜好給我作成美味,拿來給我吃,好叫我在未死以前祝福你。」
5 Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete,
依撒格對他的兒子厄撒烏說這話時,黎貝加聽見了。厄撒烏就到田間去給父親打獵,
6 Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti,
黎貝加對自己的兒子雅各伯說:「我聽見你父親對你哥哥厄撒烏說:
7 ‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’
你去給我打點獵物來,作成美味,叫我吃了,好在死前當著上主的面祝福你。」
8 Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba.
現在,我兒,要聽從我吩咐你的話。
9 Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala,
到羊群裏去,給我拿兩隻肥美的小山羊來,我要照你父親的嗜好,給他作成美味,
10 okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”
你端給父親吃,好叫他死前祝福你。」
11 Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu.
雅各伯對母親黎貝加說:「但是我哥哥渾身是毛,我卻皮膚光滑,
12 Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?”
萬一我父親摸我,必以為我哄騙他,我必招來咒罵,而不是祝福。」
13 Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”
母親對他說:「我兒,咒罵歸於我,你只管聽我的話,去給我拿來。」
14 Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala.
他遂拿了來,交給了他的母親,他母親就照他父親的嗜好作成了美味。
15 Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto,
黎貝加又將家中所存的大兒厄撒烏最好的衣服,給她小兒雅各伯穿上;
16 era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera.
又用小山羊的皮,包在他的手上和他光滑的頸上,
17 N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.
然後將自己作好的美味和餅,放在他兒子雅各伯的手裏。
18 Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”
雅各伯來到他父親前說:「我父! 」他答說:「我在這裏! 我兒,你是誰﹖」
19 Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.”
雅各伯對父親說:「我是你長子厄撒烏。我已照你吩咐的作了。請坐起來,吃我作的野味,好祝福我。」
20 Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”
依撒格對他兒子說:「我兒! 你怎麼這樣快就找著了﹖」雅各伯答說:「因為上主你的天主使我碰得好。」
21 Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”
依撒格對雅各伯說:「我兒! 你前來,讓我摸摸,看你是不是我兒厄撒烏﹖」
22 Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.”
雅各伯就走近他父親依撒格前;依撒格摸著他說:「聲音是雅各伯的聲音,手卻是厄撒烏的手。」
23 N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa.
依撒格沒有分辨出來,因為他的手,像他哥哥厄撒烏的手一樣有毛,就祝福了他。
24 Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?” N’amuddamu nti, “Ye nze.”
隨後說:「你真是我兒厄撒烏嗎﹖」雅各伯答說:「我是。」
25 N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa.
依撒格說:「我兒! 遞給我,叫我吃了你作的野味,好祝福你。」雅各伯於是遞過去,他吃了;又給他拿了酒來,他也喝了。
26 Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.”
他父親依撒烏就對他說:「我兒! 你前來吻我。」
27 N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti, “Wulira akaloosa k’omwana wange, kali ng’akaloosa k’ennimiro Mukama gy’awadde omukisa.
他就前去吻了父親。他父親一聞到他衣服上的香氣,就祝福他說:「看! 我兒子的香氣,像上主祝福的肥田的香氣。
28 Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu, n’obugimu bw’ensi, era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo.
惟願天主賜與你天上的甘露,土地的肥沃,五穀美酒的豐裕!
29 Abantu bakuweerezenga, n’amawanga gakuvuunamirenga. Fuganga baganda bo, ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga. Akolimirwe oyo anaakukolimiranga era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”
願眾民福事你,萬國叩拜你! 願你作你兄弟的主人,你母親的兒子叩拜你! 凡詛咒你的,必受詛咒;凡祝福你的,必受祝福。」
30 Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga.
依撒格一祝福了雅各伯,雅各伯剛由他父親依撒格面前出來,他哥哥厄撒烏打獵回來了。
31 Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”
他也作了美味,給他父親端來,對他父親說:「我父! 請起來吃,你兒預備的野味,好祝福我。」
32 Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”
他父親依撒格對他說:「你是誰﹖」他答說:「我是你兒,你長子厄撒烏。」
33 Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
依撒格不禁戰慄起來,驚問說:「那麼,是誰打了獵物給我送了來﹖並且在你未來以前,我已吃了,已祝福了他;他從此必蒙祝福。」
34 Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.”
厄撒烏一聽見他父親說出這話,就放聲哀號,對他父親說:「我父,請你也祝福我! 」
35 Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”
父親答說:「你弟弟用詭計來奪去了你的祝福。」
36 Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”
厄撒烏說:「他不是名叫雅各伯嗎﹖他已兩次欺騙了我:以前奪去了我長子的名分,現在又奪去了我的祝福。」繼而問說:「你沒有給我留下祝福嗎﹖」
37 Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”
依撒格回答厄撒烏說:「看,我已立他作你的主人,將所有的兄弟都給他作僕人,將五穀美酒都供給他了。我兒,我還能為你作什麼﹖」
38 Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.
厄撒烏對父親說:「我父,你只有一個祝福嗎﹖我父,你也得祝福我。」厄撒烏就放聲大哭。
39 Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti, “Laba, onooberanga mu nsi enkalu, era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
他父親依撒格回答他說:「看,你住的地方必缺乏肥沃的土地,天上的甘露。
40 Ekitala kyo kye kinaakukuumanga, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw’olimwesimattulako, oliba weefunidde eddembe.”
你要憑仗刀劍生活,要服事你的弟弟;但你一強盛起來,將由你的頸上擺脫他的束縛。」
41 Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”
厄撒烏因為他父親祝福了雅各伯,便懷恨雅各伯,心下思念說「為父親居喪的日期已近,到時我必要殺死我弟弟雅各伯。」
42 Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta.
有人告訴了黎貝加他大兒子厄撒烏所說的話;她便派人叫了她小兒雅各伯來,對他說:「看,你哥哥厄撒烏想要殺你洩恨。
43 Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani,
現在,我兒! 你得聽我的話,起身逃往哈蘭我哥哥拉班那裏去,
44 obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye.
與他住些時日,直到你哥哥忿怒消失了。
45 Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”
幾時你哥哥對你息了怒,忘了你對他作的事,我就派人去,從那裏接你回來。為什麼我在一日內要喪失你們兩個人呢﹖」
46 Lebbeeka n’alyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olw’abakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”
黎貝加就對依撒格說:「為了這兩個赫特女人,我厭惡得要死;假使雅各伯也從這地的女人中娶一個像這樣的赫特女人為妻,我還活著做什麼﹖」

< Olubereberye 27 >