< Olubereberye 25 >

1 Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula.
ויסף אברהם ויקח אשה ושמה קטורה
2 Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
ותלד לו את זמרן ואת יקשן ואת מדן ואת מדין--ואת ישבק ואת שוח
3 Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu.
ויקשן ילד את שבא ואת דדן ובני דדן היו אשורם ולטושם ולאמים
4 Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula.
ובני מדין עיפה ועפר וחנך ואבידע ואלדעה כל אלה בני קטורה
5 Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina.
ויתן אברהם את כל אשר לו ליצחק
6 Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.
ולבני הפילגשים אשר לאברהם נתן אברהם מתנת וישלחם מעל יצחק בנו בעודנו חי קדמה אל ארץ קדם
7 Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano.
ואלה ימי שני חיי אברהם--אשר חי מאת שנה ושבעים שנה וחמש שנים
8 Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi.
ויגוע וימת אברהם בשיבה טובה זקן ושבע ויאסף אל עמיו
9 Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule;
ויקברו אתו יצחק וישמעאל בניו אל מערת המכפלה אל שדה עפרן בן צחר החתי אשר על פני ממרא
10 ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we.
השדה אשר קנה אברהם מאת בני חת--שמה קבר אברהם ושרה אשתו
11 Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.
ויהי אחרי מות אברהם ויברך אלהים את יצחק בנו וישב יצחק עם באר לחי ראי
12 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
ואלה תלדת ישמעאל בן אברהם אשר ילדה הגר המצרית שפחת שרה--לאברהם
13 Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
ואלה שמות בני ישמעאל בשמתם לתולדתם בכר ישמעאל נבית וקדר ואדבאל ומבשם
14 ne Misuma, ne Duma, ne Massa,
ומשמע ודומה ומשא
15 ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema.
חדד ותימא יטור נפיש וקדמה
16 Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye.
אלה הם בני ישמעאל ואלה שמתם בחצריהם ובטירתם--שנים עשר נשיאם לאמתם
17 Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe.
ואלה שני חיי ישמעאל--מאת שנה ושלשים שנה ושבע שנים ויגוע וימת ויאסף אל עמיו
18 Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.
וישכנו מחוילה עד שור אשר על פני מצרים באכה אשורה על פני כל אחיו נפל
19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu. Ibulayimu yazaala Isaaka.
ואלה תולדת יצחק בן אברהם אברהם הוליד את יצחק
20 Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
ויהי יצחק בן ארבעים שנה בקחתו את רבקה בת בתואל הארמי מפדן ארם--אחות לבן הארמי לו לאשה
21 Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto.
ויעתר יצחק ליהוה לנכח אשתו כי עקרה הוא ויעתר לו יהוה ותהר רבקה אשתו
22 Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
ויתרצצו הבנים בקרבה ותאמר אם כן למה זה אנכי ותלך לדרש את יהוה
23 Mukama n’amuddamu nti, “Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri, abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo, omu alibeera w’amaanyi okusinga munne, era omukulu yaaliweereza omuto.”
ויאמר יהוה לה שני גיים (גוים) בבטנך ושני לאמים ממעיך יפרדו ולאם מלאם יאמץ ורב יעבד צעיר
24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi.
וימלאו ימיה ללדת והנה תומם בבטנה
25 Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu.
ויצא הראשון אדמוני כלו כאדרת שער ויקראו שמו עשו
26 Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
ואחרי כן יצא אחיו וידו אחזת בעקב עשו ויקרא שמו יעקב ויצחק בן ששים שנה בלדת אתם
27 Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka.
ויגדלו הנערים ויהי עשו איש ידע ציד איש שדה ויעקב איש תם ישב אהלים
28 Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.
ויאהב יצחק את עשו כי ציד בפיו ורבקה אהבת את יעקב
29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo.
ויזד יעקב נזיד ויבא עשו מן השדה והוא עיף
30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
ויאמר עשו אל יעקב הלעיטני נא מן האדם האדם הזה--כי עיף אנכי על כן קרא שמו אדום
31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”
ויאמר יעקב מכרה כיום את בכרתך לי
32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”
ויאמר עשו הנה אנכי הולך למות ולמה זה לי בכרה
33 Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.
ויאמר יעקב השבעה לי כיום וישבע לו וימכר את בכרתו ליעקב
34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda. Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
ויעקב נתן לעשו לחם ונזיד עדשים ויאכל וישת ויקם וילך ויבז עשו את הבכרה

< Olubereberye 25 >