< Olubereberye 23 >

1 Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu.
サラの一生は百二十七年であった。これがサラの生きながらえた年である。
2 N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.
サラはカナンの地のキリアテ・アルバすなわちヘブロンで死んだ。アブラハムは中にはいってサラのために悲しみ泣いた。
3 Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti n’abagamba nti,
アブラハムは死人のそばから立って、ヘテの人々に言った、
4 “Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.”
「わたしはあなたがたのうちの旅の者で寄留者ですが、わたしの死人を出して葬るため、あなたがたのうちにわたしの所有として一つの墓地をください」。
5 Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti,
ヘテの人々はアブラハムに答えて言った、
6 “Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”
「わが主よ、お聞きなさい。あなたはわれわれのうちにおられて、神のような主君です。われわれの墓地の最も良い所にあなたの死人を葬りなさい。その墓地を拒んで、あなたにその死人を葬らせない者はわれわれのうちには、ひとりもないでしょう」。
7 Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi.
アブラハムは立ちあがり、その地の民ヘテの人々に礼をして、
8 N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
彼らに言った、「もしわたしの死人を葬るのに同意されるなら、わたしの願いをいれて、わたしのためにゾハルの子エフロンに頼み、
9 anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.”
彼が持っている畑の端のマクペラのほら穴をじゅうぶんな代価でわたしに与え、あなたがたのうちに墓地を持たせてください」。
10 Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti,
時にエフロンはヘテの人々のうちにすわっていた。そこでヘテびとエフロンはヘテの人々、すなわちすべてその町の門にはいる人々の聞いているところで、アブラハムに答えて言った、
11 “Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”
「いいえ、わが主よ、お聞きなさい。わたしはあの畑をあなたにさしあげます。またその中にあるほら穴もさしあげます。わたしの民の人々の前で、それをさしあげます。あなたの死人を葬りなさい」。
12 Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna.
アブラハムはその地の民の前で礼をし、
13 N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
その地の民の聞いているところでエフロンに言った、「あなたがそれを承諾されるなら、お聞きなさい。わたしはその畑の代価を払います。お受け取りください。わたしの死人をそこに葬りましょう」。
14 Efulooni n’addamu Ibulayimu nti,
エフロンはアブラハムに答えて言った、
15 “Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
「わが主よ、お聞きなさい。あの地は銀四百シケルですが、これはわたしとあなたの間で、なにほどのことでしょう。あなたの死人を葬りなさい」。
16 Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.
そこでアブラハムはエフロンの言葉にしたがい、エフロンがヘテの人々の聞いているところで言った銀、すなわち商人の通用銀四百シケルを量ってエフロンに与えた。
17 Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya
こうしてマムレの前のマクペラにあるエフロンの畑は、畑も、その中のほら穴も、畑の中およびその周囲の境にあるすべての木も皆、
18 Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba.
ヘテの人々の前、すなわちその町の門にはいるすべての人々の前で、アブラハムの所有と決まった。
19 Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
その後、アブラハムはその妻サラをカナンの地にあるマムレ、すなわちヘブロンの前のマクペラの畑のほら穴に葬った。
20 Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.
このように畑とその中にあるほら穴とはヘテの人々によってアブラハムの所有の墓地と定められた。

< Olubereberye 23 >