< Olubereberye 22 >
1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
2 Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”
3 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba.
4 Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo.
5 Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.”
6 Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi.
7 Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?”
8 Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.
9 Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku.
10 Awo Ibulayimu n’akwata ekiso, n’agolola omukono gwe atte omwana we.
11 Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti,
12 “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”
13 Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we.
14 Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Mukama alitugabirira, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.
15 Awo malayika wa Mukama n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu,
16 n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati,
17 ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe,
18 era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
19 Ibulayimu n’alyoka addayo eri abavubuka be, ne basitula ne balaga e Beeruseba.
20 Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye,
21 ne muto we ye Buzi, ne Kemweri kitaawe wa Alamu,
22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.”
23 Era Besweri yazaala Lebbeeka. Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu.
24 Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano: Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.