< Olubereberye 20 >

1 Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali.
Abraham traveled from there toward the land of the South, and lived between Kadesh and Shur. He lived as a foreigner in Gerar.
2 Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
Abraham said about Sarah his wife, “She is my sister.” Abimelech king of Gerar sent, and took Sarah.
3 Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.”
But God came to Abimelech in a dream of the night, and said to him, “Behold, you are a dead man, because of the woman whom you have taken; for she is a man’s wife.”
4 Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango.
Now Abimelech had not come near her. He said, “Lord, will you kill even a righteous nation?
5 Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
Did not he tell me, ‘She is my sister’? She, even she herself, said, ‘He is my brother.’ I have done this in the integrity of my heart and the innocence of my hands.”
6 Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako.
God said to him in the dream, “Yes, I know that in the integrity of your heart you have done this, and I also withheld you from sinning against me. Therefore I did not allow you to touch her.
7 Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
Now therefore, restore the man’s wife. For he is a prophet, and he will pray for you, and you will live. If you do not restore her, know for sure that you will die, you, and all who are yours.”
8 Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo.
Abimelech rose early in the morning, and called all his servants, and told all these things in their ear. The men were very scared.
9 Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.”
Then Abimelech called Abraham, and said to him, “What have you done to us? How have I sinned against you, that you have brought on me and on my kingdom a great sin? You have done deeds to me that ought not to be done!”
10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?”
Abimelech said to Abraham, “What did you see, that you have done this thing?”
11 Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange.
Abraham said, “Because I thought, ‘Surely the fear of God is not in this place. They will kill me for my wife’s sake.’
12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange.
Besides, she is indeed my sister, the daughter of my father, but not the daughter of my mother; and she became my wife.
13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’”
When God caused me to wander from my father’s house, I said to her, ‘This is your kindness which you shall show to me. Everywhere that we go, say of me, “He is my brother.”’”
14 Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we.
Abimelech took sheep and cattle, male servants and female servants, and gave them to Abraham, and restored Sarah, his wife, to him.
15 Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
Abimelech said, “Behold, my land is before you. Dwell where it pleases you.”
16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
To Sarah he said, “Behold, I have given your brother a thousand pieces of silver. Behold, it is for you a covering of the eyes to all that are with you. In front of all you are vindicated.”
17 Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana.
Abraham prayed to God. So God healed Abimelech, his wife, and his female servants, and they bore children.
18 Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
For the LORD had closed up tight all the wombs of the house of Abimelech, because of Sarah, Abraham’s wife.

< Olubereberye 20 >