< Olubereberye 17 >
1 Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
亞巴郎九十九歲時,上主顯現給他,對他說:「我是全能的天主,你當在我面前行走,作個成全的人。
2 Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”
我要與你立約,使你極其繁盛。」
3 Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti,
亞巴郎遂俯伏在地;天主又對他說:
4 “Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
「看,是我與你立約:你要成為萬民之父;
5 Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
以後,你不再叫做亞巴郎,要叫做亞巴辣罕,因為我已立定你為萬民之父,
6 Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe.
使你極其繁衍,成為一大民族,君王要由你而出。
7 Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe.
我要在我與你和你歷代後裔之間,訂立我的約,當作永久的約,就是我要做你和你後裔的天主。
8 Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”
我必將你現今僑居之地,即客納罕全地,賜給你和你的後裔做永久的產業;我要作他們的天主。」
9 Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna.
天主又對亞巴郎說:「你和你的後裔,世世代代應遵守我的約。
10 Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.
這就是你們應遵守的,在我與你們以及你的後裔之間所立的約:你們中所有的男子都應受割損。
11 Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
你們都應割去肉體上的包皮,作為我與你們之間的盟約的標記。
12 Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga,
你們中世世代代所有的男子,在生後八日都應受割損;連家中生的,或是用錢買來而不屬你種族的外方人,都應受割損。
13 oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
凡在你家中生的,和你用錢買來的奴僕,都該受割損。這樣,我的約刻在你們肉體上作為永久的約。
14 Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”
凡未割去包皮,未受割損的男子,應由民間剷除;因他違犯了我的約。」
15 Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
天主又對亞巴郎說:「你的妻子撒辣依,你不要再叫她撒辣依,而要叫她撒辣。
16 Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”
我必要祝福她,使她也給你生個兒子。我要祝福她,使她成為一大民族,人民的君王要由她而生。
17 Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
亞巴郎遂俯伏在地笑起來,心想:「百歲的人還能生子嗎﹖撒辣已九十歲,還能生子﹖」
18 Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”
亞巴郎對天主說:「只望依市瑪耳在你面前生存就夠了! 」
19 Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
天主說:「你的妻子撒辣確要給你生個兒子,你要給他起名叫依撒格;我要與他和他的後裔,訂立我的約當作永久的約。
20 Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi.
至於依市瑪耳,我也聽從你;我要祝福他,使他繁衍,極其昌盛。他要生十二個族長,我要使他成為一大民族。
21 Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
但是我的約,我要與明年此時撒辣給你生的依撒格訂立。」
22 Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali.
天主同亞巴郎說完話,就離開他上升去了。
23 Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.
當天,亞巴郎就照天主所吩咐的,召集他的兒子依市瑪耳幾以及凡家中生的,和用錢買來的奴僕,即自己家中的一切男子,割去了他們肉體上的包皮。
24 Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe.
亞巴郎受割損時,已九十九歲;
25 Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe.
他的兒子,依市瑪耳受割損時,是十三歲。
26 Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa.
亞巴郎和他的兒子依市瑪耳在同日上受了割損。
27 N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.
他家中所有的男人,不論是家中生的,或是由外方人那裏用錢買來的奴僕,都與他一同受了割損。