1Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali, ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu,
This chapter is missing in the source text.
2bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali.
3Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo).
4Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.
5Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu,
7Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
8Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu
9okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano.
10Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi.
11Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda.
12Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.
13Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu.
14Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani.
15Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko.
16Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
17Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka).
18Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo.