< Olubereberye 11 >
1 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu.
2 Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.
3 Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
4 Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5 Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba.
6 Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
7 Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8 Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza.
9 Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
10 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba.
11 Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
12 Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera,
13 Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi,
15 ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
16 Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi.
17 Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
18 Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo,
19 bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
20 Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi.
21 N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
22 Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli,
23 bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
24 Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera.
25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
27 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
28 Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa.
29 Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
30 Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo.
32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.