< Olubereberye 10 >
1 Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
2 Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.
3 Batabani ba Gomeri be bano: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 Batabani ba Yivani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu.
5 (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
6 Batabani ba Kaamu be bano: Kuusi, ne Misiri, ne Puuti, ne Kanani.
7 Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani.
8 Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi.
9 Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
10 Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.
11 Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne
12 Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13 Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
14 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15 Kanani ye yazaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi,
16 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi,
17 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini,
18 n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna.
19 Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20 Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
21 Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22 Abaana ba Seemu be bano: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
23 Batabani ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.
24 Alupakusaadi ye kitaawe wa Seera. Seera ye kitaawe wa Eberi.
25 Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi, kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
26 Yokutaani ye yali kitaawe wa Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera,
27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula,
28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,
29 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30 Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31 Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32 Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.