< Ezera 6 >
1 Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni.
τότε Δαρεῖος ὁ βασιλεὺς ἔθηκεν γνώμην καὶ ἐπεσκέψατο ἐν ταῖς βιβλιοθήκαις ὅπου ἡ γάζα κεῖται ἐν Βαβυλῶνι
2 Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti: Ekiwandiiko:
καὶ εὑρέθη ἐν πόλει ἐν τῇ βάρει τῆς Μήδων πόλεως κεφαλὶς μία καὶ τοῦτο ἦν γεγραμμένον ἐν αὐτῇ ὑπόμνημα
3 Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti: Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi,
ἐν ἔτει πρώτῳ Κύρου βασιλέως Κῦρος ὁ βασιλεὺς ἔθηκεν γνώμην περὶ οἴκου τοῦ θεοῦ τοῦ ἐν Ιερουσαλημ οἶκος οἰκοδομηθήτω καὶ τόπος οὗ θυσιάζουσιν τὰ θυσιάσματα καὶ ἔθηκεν ἔπαρμα ὕψος πήχεις ἑξήκοντα πλάτος αὐτοῦ πήχεων ἑξήκοντα
4 ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka.
καὶ δόμοι λίθινοι κραταιοὶ τρεῖς καὶ δόμος ξύλινος εἷς καὶ ἡ δαπάνη ἐξ οἴκου τοῦ βασιλέως δοθήσεται
5 Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.
καὶ τὰ σκεύη οἴκου τοῦ θεοῦ τὰ ἀργυρᾶ καὶ τὰ χρυσᾶ ἃ Ναβουχοδονοσορ ἐξήνεγκεν ἀπὸ οἴκου τοῦ ἐν Ιερουσαλημ καὶ ἐκόμισεν εἰς Βαβυλῶνα καὶ δοθήτω καὶ ἀπελθάτω εἰς τὸν ναὸν τὸν ἐν Ιερουσαλημ ἐπὶ τόπου οὗ ἐτέθη ἐν οἴκῳ τοῦ θεοῦ
6 Kale nno, Tattenayi ow’essaza ery’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, n’abakungu abeeyo mwewale okutabulatabula.
νῦν δώσετε ἔπαρχοι πέραν τοῦ ποταμοῦ Σαθαρβουζανα καὶ οἱ σύνδουλοι αὐτῶν Αφαρσαχαῖοι οἱ ἐν πέρα τοῦ ποταμοῦ μακρὰν ὄντες ἐκεῖθεν
7 Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.
ἄφετε τὸ ἔργον οἴκου τοῦ θεοῦ οἱ ἀφηγούμενοι τῶν Ιουδαίων καὶ οἱ πρεσβύτεροι τῶν Ιουδαίων οἶκον τοῦ θεοῦ ἐκεῖνον οἰκοδομείτωσαν ἐπὶ τοῦ τόπου αὐτοῦ
8 Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda: Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira.
καὶ ἀπ’ ἐμοῦ ἐτέθη γνώμη μήποτέ τι ποιήσητε μετὰ τῶν πρεσβυτέρων τῶν Ιουδαίων τοῦ οἰκοδομῆσαι οἶκον τοῦ θεοῦ ἐκεῖνον καὶ ἀπὸ ὑπαρχόντων βασιλέως τῶν φόρων πέραν τοῦ ποταμοῦ ἐπιμελῶς δαπάνη ἔστω διδομένη τοῖς ἀνδράσιν ἐκείνοις τὸ μὴ καταργηθῆναι
9 Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa,
καὶ ὃ ἂν ὑστέρημα καὶ υἱοὺς βοῶν καὶ κριῶν καὶ ἀμνοὺς εἰς ὁλοκαυτώσεις τῷ θεῷ τοῦ οὐρανοῦ πυρούς ἅλας οἶνον ἔλαιον κατὰ τὸ ῥῆμα τῶν ἱερέων τῶν ἐν Ιερουσαλημ ἔστω διδόμενον αὐτοῖς ἡμέραν ἐν ἡμέρᾳ ὃ ἐὰν αἰτήσωσιν
10 basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be.
ἵνα ὦσιν προσφέροντες εὐωδίας τῷ θεῷ τοῦ οὐρανοῦ καὶ προσεύχωνται εἰς ζωὴν τοῦ βασιλέως καὶ τῶν υἱῶν αὐτοῦ
11 Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo.
καὶ ἀπ’ ἐμοῦ ἐτέθη γνώμη ὅτι πᾶς ἄνθρωπος ὃς ἀλλάξει τὸ ῥῆμα τοῦτο καθαιρεθήσεται ξύλον ἐκ τῆς οἰκίας αὐτοῦ καὶ ὠρθωμένος παγήσεται ἐπ’ αὐτοῦ καὶ ὁ οἶκος αὐτοῦ τὸ κατ’ ἐμὲ ποιηθήσεται
12 Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna n’eggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba n’okuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi. Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri.
καὶ ὁ θεός οὗ κατασκηνοῖ τὸ ὄνομα ἐκεῖ καταστρέψει πάντα βασιλέα καὶ λαόν ὃς ἐκτενεῖ τὴν χεῖρα αὐτοῦ ἀλλάξαι ἢ ἀφανίσαι τὸν οἶκον τοῦ θεοῦ ἐκεῖνον τὸν ἐν Ιερουσαλημ ἐγὼ Δαρεῖος ἔθηκα γνώμην ἐπιμελῶς ἔσται
13 Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna.
τότε Θανθαναι ἔπαρχος πέραν τοῦ ποταμοῦ Σαθαρβουζανα καὶ οἱ σύνδουλοι αὐτοῦ πρὸς ὃ ἀπέστειλεν Δαρεῖος ὁ βασιλεὺς οὕτως ἐποίησαν ἐπιμελῶς
14 Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali.
καὶ οἱ πρεσβύτεροι τῶν Ιουδαίων ᾠκοδομοῦσαν καὶ οἱ Λευῖται ἐν προφητείᾳ Αγγαιου τοῦ προφήτου καὶ Ζαχαριου υἱοῦ Αδδω καὶ ἀνῳκοδόμησαν καὶ κατηρτίσαντο ἀπὸ γνώμης θεοῦ Ισραηλ καὶ ἀπὸ γνώμης Κύρου καὶ Δαρείου καὶ Αρθασασθα βασιλέων Περσῶν
15 Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.
καὶ ἐτέλεσαν τὸν οἶκον τοῦτον ἕως ἡμέρας τρίτης μηνὸς Αδαρ ὅ ἐστιν ἔτος ἕκτον τῇ βασιλείᾳ Δαρείου τοῦ βασιλέως
16 Awo abantu ba Isirayiri, bakabona n’Abaleevi n’abalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga ey’okutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu.
καὶ ἐποίησαν οἱ υἱοὶ Ισραηλ οἱ ἱερεῖς καὶ οἱ Λευῖται καὶ οἱ κατάλοιποι υἱῶν ἀποικεσίας ἐγκαίνια τοῦ οἴκου τοῦ θεοῦ ἐν εὐφροσύνῃ
17 Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri.
καὶ προσήνεγκαν εἰς τὰ ἐγκαίνια τοῦ οἴκου τοῦ θεοῦ μόσχους ἑκατόν κριοὺς διακοσίους ἀμνοὺς τετρακοσίους χιμάρους αἰγῶν περὶ ἁμαρτίας ὑπὲρ παντὸς Ισραηλ δώδεκα εἰς ἀριθμὸν φυλῶν Ισραηλ
18 Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
καὶ ἔστησαν τοὺς ἱερεῖς ἐν διαιρέσεσιν αὐτῶν καὶ τοὺς Λευίτας ἐν μερισμοῖς αὐτῶν ἐπὶ δουλείᾳ θεοῦ τοῦ ἐν Ιερουσαλημ κατὰ τὴν γραφὴν βιβλίου Μωυσῆ
19 Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga ey’Okuyitako.
καὶ ἐποίησαν οἱ υἱοὶ τῆς ἀποικεσίας τὸ πασχα τῇ τεσσαρεσκαιδεκάτῃ τοῦ μηνὸς τοῦ πρώτου
20 Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini.
ὅτι ἐκαθαρίσθησαν οἱ ἱερεῖς καὶ οἱ Λευῖται ἕως εἷς πάντες καθαροὶ καὶ ἔσφαξαν τὸ πασχα τοῖς πᾶσιν υἱοῖς τῆς ἀποικεσίας καὶ τοῖς ἀδελφοῖς αὐτῶν τοῖς ἱερεῦσιν καὶ ἑαυτοῖς
21 Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri.
καὶ ἔφαγον οἱ υἱοὶ Ισραηλ τὸ πασχα οἱ ἀπὸ τῆς ἀποικεσίας καὶ πᾶς ὁ χωριζόμενος τῆς ἀκαθαρσίας ἐθνῶν τῆς γῆς πρὸς αὐτοὺς τοῦ ἐκζητῆσαι κύριον θεὸν Ισραηλ
22 Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.
καὶ ἐποίησαν τὴν ἑορτὴν τῶν ἀζύμων ἑπτὰ ἡμέρας ἐν εὐφροσύνῃ ὅτι εὔφρανεν αὐτοὺς κύριος καὶ ἐπέστρεψεν καρδίαν βασιλέως Ασσουρ ἐπ’ αὐτοὺς κραταιῶσαι τὰς χεῖρας αὐτῶν ἐν ἔργοις οἴκου τοῦ θεοῦ Ισραηλ