< Ezera 5 >
1 Awo bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya muzzukulu wa Iddo ne bategeeza Abayudaaya abaabeeranga mu Yuda ne Yerusaalemi obubaka obuva eri Katonda wa Isirayiri, Katonda waabwe.
2 Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bagolokoka ne bagenda mu maaso n’omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era ne bannabbi ba Katonda nga babayambako.
3 Mu kiseera kyekimu Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bagenda gye bali ne bababuuza nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzaawo bbugwe oyo?”
4 Ate era ne bababuuza n’amannya g’abasajja abaakolanga ku kizimbe ekyo.
5 Naye Katonda waabwe n’abeeranga wamu n’abakulu b’Abayudaaya, ne bataziyizibwa kugenda mu maaso n’omulimu okutuusa ekigambo nga kivudde eri Daliyo, n’okuddamu kwe nga kuli mu buwandiike.
6 Kopi ey’ebbaluwa Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe abakungu ab’emitala w’omugga Fulaati gye baaweereza Kabaka Daliyo,
7 yalimu ebigambo bino wansi. Eri Kabaka Daliyo, Mirembe myereere.
8 Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba n’amayinja amanene era bateeka n’embaawo mu bbugwe, era n’omulimu gukolebwa n’obunyiikivu n’okugenda gugenda mu maaso olw’okufuba kwabwe.
9 Twabuuza abakulu nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzzaawo bbugwe oyo?”
10 Era twababuuza n’amannya gaabwe, tusobole okukuweereza amannya g’abakulembeze baabwe.
11 Baatuddamu nti: “Tuli baddu ba Katonda w’eggulu n’ensi, era tuddaabiriza yeekaalu eyazimbibwa emyaka egy’edda omu ku bakabaka abakulu aba Isirayiri, n’agimala.
12 Naye olw’okuba nga bajjajjaffe baasunguwaza Katonda w’eggulu, yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza Omukaludaaya, kabaka w’e Babulooni, eyazikiriza yeekaalu eno n’atwala abantu e Babulooni.
13 “Naye mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Babulooni, kabaka Kuulo oyo n’awa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda eno.
14 Ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu ssabo ly’e Babulooni, Kabaka Kuulo n’abiggyayo. Kabaka Kuulo n’abikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza,
15 era n’amugamba nti, ‘Twala ebintu ebyo, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era olabe ng’ennyumba ya Katonda edda mu kifo kyayo.’
16 “Sesubazaali oyo n’ajja n’azimba omusingi gw’ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano omulimu gukyagenda mu maaso, tegunnagwa.”
17 Noolwekyo kabaka bw’aba ng’asiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. N’oluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza ky’asazeewo ku nsonga eyo.