< Ezera 2 >
1 Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
2 Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana. Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
3 bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri,
4 bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri,
5 bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano,
6 bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri,
7 bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
8 bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano,
9 bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga,
10 bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri,
11 bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu,
12 bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri,
13 bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14 bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga,
15 bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana,
16 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana,
17 bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu,
18 bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri,
19 bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu,
20 bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano.
21 Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu,
22 abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga,
23 abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana,
24 abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri,
25 abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu,
26 abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu,
27 abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri,
28 abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu,
29 abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri,
30 abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga,
31 abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
32 abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri,
33 abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano,
34 abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano,
35 n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu.
36 Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu,
37 bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri,
38 bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu,
39 bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu.
40 Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana.
41 Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu kikumi mu amakumi abiri mu munaana.
42 Bano be baakuumanga enzigi za yeekaalu: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda.
43 Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
44 bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
45 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
46 bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
47 bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
48 bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
49 bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
50 bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
51 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
52 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
53 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
54 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
56 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
57 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.
58 Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
59 Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60 Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri.
61 Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
62 Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu.
63 Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
64 Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga,
65 okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu, n’abayimbi abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri.
66 Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano,
67 n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano, n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
68 Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda.
69 Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu, ne tani ssatu, n’ebyambalo bya bakabona kikumi mu ggwanika.
70 Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.