< Ezera 1 >

1 Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,
In the first year of Cyrus, king of Persia, Yahweh fulfilled his word that came from the mouth of Jeremiah, and stirred Cyrus's spirit. Cyrus' voice went out over his entire kingdom. This is what was written and spoken:
2 “Bw’ati bw’ayogera Kuulo kabaka w’e Buperusi nti, “‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda.
“Cyrus, king of Persia, says: Yahweh, God of Heaven, gave me all the kingdoms of the earth, and he appointed me to build for him a house in Jerusalem in Judea.
3 Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
Whoever is from his people (may his God be with him) may go up to Jerusalem and build a house for Yahweh, the God of Israel, the God who is in Jerusalem.
4 Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’”
People of any part of the kingdom where survivors of that land are living should provide them with silver and gold, possessions and animals, as well as a freewill offering for God's house in Jerusalem.”
5 Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
Then the heads of the ancestors' clans of Judah and Benjamin, the priests and Levites, and everyone whose spirit God stirred to go and build his house arose.
6 Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde.
Those around them supported their work with silver and gold objects, possessions, animals, valuables, and freewill offerings.
7 Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo.
Cyrus king of Persia also released the objects belonging to Yahweh's house that Nebuchadnezzar had brought from Jerusalem and put in his own gods' houses.
8 Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
Cyrus put them into the hand of Mithredath the treasurer, who counted them out for Sheshbazzar, Judea's leader.
9 Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,
This was their number: thirty gold basins, one thousand silver basins, twenty-nine other basins,
10 Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000.
thirty gold bowls, 410 small silver bowls, and one thousand additional objects.
11 Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
There were 5,400 gold and silver items in all. Sheshbazzar brought all of them when the exiles went from Babylon to Jerusalem.

< Ezera 1 >