< Ezeekyeri 9 >
1 Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.”
Então ele gritou em meus ouvidos com uma voz alta, dizendo: “Porque aqueles que estão no comando da cidade se aproximem, cada homem com sua arma destruidora na mão”.
2 Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.
Eis que seis homens vieram do caminho do portão superior, que fica ao norte, cada homem com a sua arma de matança na mão. Um homem no meio deles estava vestido de linho, com um tinteiro de escritor ao seu lado. Eles entraram, e ficaram ao lado do altar de bronze.
3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu,
A glória do Deus de Israel subiu do querubim, onde estava até a soleira da casa; e ele chamou o homem vestido de linho, que tinha o tinteiro do escritor ao seu lado.
4 n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”
Yahweh disse-lhe: “Passe pelo meio da cidade, pelo meio de Jerusalém, e ponha uma marca na testa dos homens que suspiram e que choram sobre todas as abominações que são feitas dentro dela”.
5 Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa.
Para os outros ele disse em minha audiência: “Vá pela cidade depois dele, e faça greve”. Não deixe que seu olho poupe, nem tenha piedade”.
6 Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.
Matem totalmente o homem velho, o jovem, a virgem, as crianças pequenas e as mulheres; mas não se aproximem de nenhum homem em quem a marca seja a marca. Comece em meu santuário”. Então eles começaram nos velhos que estavam antes da casa.
7 N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna.
Ele lhes disse: “Desonrei a casa e encherei os tribunais com os mortos”. Saiam”! Eles saíram, e atacaram na cidade.
8 Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”
Enquanto matavam, e eu fiquei, caí de cara, chorei e disse: “Ah Senhor Javé! Vós destruiríeis todos os resíduos de Israel em vosso derramamento de vossa ira sobre Jerusalém”?
9 N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’
Então ele me disse: “A iniqüidade da casa de Israel e Judá é extremamente grande, e a terra está cheia de sangue, e a cidade cheia de perversão; pois dizem: 'Javé abandonou a terra, e Javé não vê'.
10 Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”
Quanto a mim também, meu olho não poupará, nem eu terei piedade, mas lhes trarei a cabeça”.
11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”
Eis que o homem vestido de linho, que tinha o tinteiro ao seu lado, relatou o assunto, dizendo: “Eu fiz como me mandou”.