< Ezeekyeri 7 >

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר
2 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: “‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi.
ואתה בן אדם כה אמר אדני יהוה לאדמת ישראל--קץ בא הקץ על ארבעת (ארבע) כנפות הארץ
3 Enkomerero ebatuuseeko era ndibasumulurira obusungu bwange, ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
עתה הקץ עליך ושלחתי אפי בך ושפטתיך כדרכיך ונתתי עליך את כל תועבותיך
4 Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ng’engeri zammwe, n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
ולא תחוס עיני עליך ולא אחמול כי דרכיך עליך אתן ותועבותיך בתוכך תהיין וידעתם כי אני יהוה
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “‘Okuzikirizibwa okutali kumu laba kujja.
כה אמר אדני יהוה רעה אחת רעה הנה באה
6 Enkomerero etuuse, enkomerero etuuse! Ebagolokokeddeko era ejja.
קץ בא בא הקץ הקיץ אליך הנה באה
7 Akabi kabajjidde, mmwe abatuuze. Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi, olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
באה הצפירה אליך יושב הארץ בא העת קרוב היום מהומה--ולא הד הרים
8 Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
עתה מקרוב אשפוך חמתי עליך וכליתי אפי בך ושפטתיך כדרכיך ונתתי עליך את כל תועבותיך
9 Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa. Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.
ולא תחוס עיני ולא אחמול כדרכיך עליך אתן ותועבותיך בתוכך תהיין וידעתם כי אני יהוה מכה
10 “‘Olunaku luuluno lutuuse. Akabi kabajjidde, obutali bwenkanya bumeze, n’amalala gamulisizza.
הנה היום הנה באה יצאה הצפרה--צץ המטה פרח הזדון
11 Obusungu bweyongedde ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; tewaliba n’omu alisigalawo; tewaliba n’omu ku kibiina newaakubadde ku byobugagga byabwe, newaakubadde eky’omuwendo.
החמס קם למטה רשע לא מהם ולא מהמונם ולא מהמהם--ולא נה בהם
12 Ekiseera kituuse, n’olunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, n’oyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
בא העת הגיע היום--הקונה אל ישמח והמכר אל יתאבל כי חרון אל כל המונה
13 Atunda taliddizibwa kintu kye yatunda, bombi bwe banaaba nga bakyali balamu. Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna so tekukyajulukuka. Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu aliwonya obulamu bwe.
כי המכר אל הממכר לא ישוב ועוד בחיים חיתם כי חזון אל כל המונה לא ישוב ואיש בעונו חיתו לא יתחזקו
14 “‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, tewaliba n’omu aligenda mu lutalo, kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
תקעו בתקוע והכין הכל ואין הלך למלחמה כי חרוני אל כל המונה
15 Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
החרב בחוץ והדבר והרעב מבית אשר בשדה בחרב ימות ואשר בעיר רעב ודבר יאכלנו
16 N’abo abaliwonawo baliddukira mu nsozi, nga bakaaba nga bukaamukuukulu obw’omu biwonvu, buli omu olw’ebibi bye.
ופלטו פליטיהם והיו אל ההרים כיוני הגאיות כלם המות--איש בעונו
17 Emikono gyonna giriremala, n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
כל הידים תרפינה וכל ברכים תלכנה מים
18 Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; baliswala, n’emitwe gyabwe girimwebwa.
וחגרו שקים וכסתה אותם פלצות ואל כל פנים בושה ובכל ראשיהם קרחה
19 “‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe. Era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
כספם בחוצות ישליכו וזהבם לנדה יהיה--כספם וזהבם לא יוכל להצילם ביום עברת יהוה נפשם לא ישבעו ומעיהם לא ימלאו כי מכשול עונם היה
20 Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo n’ebintu ebirala eby’ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
וצבי עדיו לגאון שמהו וצלמי תועבתם שקוציהם עשו בו על כן נתתיו להם לנדה
21 Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago era balibyonoona.
ונתתיו ביד הזרים לבז ולרשעי הארץ לשלל וחללוה (וחללוהו)
22 Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo; n’abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
והסבותי פני מהם וחללו את צפוני ובאו בה פריצים וחללוה
23 “‘Muteeketeeke enjegere kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde effujjo.
עשה הרתוק כי הארץ מלאה משפט דמים והעיר מלאה חמס
24 Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, ne batwala ennyumba zaabwe, era ndikomya amalala gaabwe n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
והבאתי רעי גוים וירשו את בתיהם והשבתי גאון עזים ונחלו מקדשיהם
25 Entiisa bw’erijja, balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
קפדה בא ובקשו שלום ואין
26 Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ne zeeyongera; balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
הוה על הוה תבוא ושמעה אל שמועה תהיה ובקשו חזון מנביא--ותורה תאבד מכהן ועצה מזקנים
27 Kabaka alikaaba, n’omulangira alijjula obuyinike, n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa. Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri, era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri. Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’”
המלך יתאבל ונשיא ילבש שממה וידי עם הארץ תבהלנה מדרכם אעשה אתם ובמשפטיהם אשפטם וידעו כי אני יהוה

< Ezeekyeri 7 >