< Ezeekyeri 48 >

1 “Gano ge mannya g’ebika: “Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.
ואלה שמות השבטים מקצה צפונה אל יד דרך חתלן לבוא חמת חצר עינן גבול דמשק צפונה אל יד חמת והיו לו פאת קדים הים דן אחד׃
2 N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.
ועל גבול דן מפאת קדים עד פאת ימה אשר אחד׃
3 N’okuliraana Aseri okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali.
ועל גבול אשר מפאת קדימה ועד פאת ימה נפתלי אחד׃
4 N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.
ועל גבול נפתלי מפאת קדמה עד פאת ימה מנשה אחד׃
5 N’okuliraana Manase okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu.
ועל גבול מנשה מפאת קדמה עד פאת ימה אפרים אחד׃
6 N’okuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni.
ועל גבול אפרים מפאת קדים ועד פאת ימה ראובן אחד׃
7 N’okuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda.
ועל גבול ראובן מפאת קדים עד פאת ימה יהודה אחד׃
8 “Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.
ועל גבול יהודה מפאת קדים עד פאת ימה תהיה התרומה אשר תרימו חמשה ועשרים אלף רחב וארך כאחד החלקים מפאת קדימה עד פאת ימה והיה המקדש בתוכו׃
9 “Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
התרומה אשר תרימו ליהוה ארך חמשה ועשרים אלף ורחב עשרת אלפים׃
10 Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama.
ולאלה תהיה תרומת הקדש לכהנים צפונה חמשה ועשרים אלף וימה רחב עשרת אלפים וקדימה רחב עשרת אלפים ונגבה ארך חמשה ועשרים אלף והיה מקדש יהוה בתוכו׃
11 Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako.
לכהנים המקדש מבני צדוק אשר שמרו משמרתי אשר לא תעו בתעות בני ישראל כאשר תעו הלוים׃
12 Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi.
והיתה להם תרומיה מתרומת הארץ קדש קדשים אל גבול הלוים׃
13 “Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
והלוים לעמת גבול הכהנים חמשה ועשרים אלף ארך ורחב עשרת אלפים כל ארך חמשה ועשרים אלף ורחב עשרת אלפים׃
14 Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.
ולא ימכרו ממנו ולא ימר ולא יעבור ראשית הארץ כי קדש ליהוה׃
15 “Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo,
וחמשת אלפים הנותר ברחב על פני חמשה ועשרים אלף חל הוא לעיר למושב ולמגרש והיתה העיר בתוכה׃
16 era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu.
ואלה מדותיה פאת צפון חמש מאות וארבעת אלפים ופאת נגב חמש חמש מאות וארבעת אלפים ומפאת קדים חמש מאות וארבעת אלפים ופאת ימה חמש מאות וארבעת אלפים׃
17 Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga.
והיה מגרש לעיר צפונה חמשים ומאתים ונגבה חמשים ומאתים וקדימה חמשים ומאתים וימה חמשים ומאתים׃
18 Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga.
והנותר בארך לעמת תרומת הקדש עשרת אלפים קדימה ועשרת אלפים ימה והיה לעמת תרומת הקדש והיתה תבואתה ללחם לעבדי העיר׃
19 Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri.
והעבד העיר יעבדוהו מכל שבטי ישראל׃
20 Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga.
כל התרומה חמשה ועשרים אלף בחמשה ועשרים אלף רביעית תרימו את תרומת הקדש אל אחזת העיר׃
21 “Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo.
והנותר לנשיא מזה ומזה לתרומת הקדש ולאחזת העיר אל פני חמשה ועשרים אלף תרומה עד גבול קדימה וימה על פני חמשה ועשרים אלף על גבול ימה לעמת חלקים לנשיא והיתה תרומת הקדש ומקדש הבית בתוכה׃
22 Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini.
ומאחזת הלוים ומאחזת העיר בתוך אשר לנשיא יהיה בין גבול יהודה ובין גבול בנימן לנשיא יהיה׃
23 “N’ebika ebirala birigabana bwe biti: “Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
ויתר השבטים מפאת קדמה עד פאת ימה בנימן אחד׃
24 N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.
ועל גבול בנימן מפאת קדימה עד פאת ימה שמעון אחד׃
25 N’okuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali.
ועל גבול שמעון מפאת קדימה עד פאת ימה יששכר אחד׃
26 N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.
ועל גבול יששכר מפאת קדימה עד פאת ימה זבולן אחד׃
27 N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.
ועל גבול זבולן מפאת קדמה עד פאת ימה גד אחד׃
28 N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.
ועל גבול גד אל פאת נגב תימנה והיה גבול מתמר מי מריבת קדש נחלה על הים הגדול׃
29 “Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
זאת הארץ אשר תפילו מנחלה לשבטי ישראל ואלה מחלקתם נאם אדני יהוה׃
30 “Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu: “Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu,
ואלה תוצאת העיר מפאת צפון חמש מאות וארבעת אלפים מדה׃
31 emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.
ושערי העיר על שמות שבטי ישראל שערים שלושה צפונה שער ראובן אחד שער יהודה אחד שער לוי אחד׃
32 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.
ואל פאת קדימה חמש מאות וארבעת אלפים ושערים שלשה ושער יוסף אחד שער בנימן אחד שער דן אחד׃
33 Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.
ופאת נגבה חמש מאות וארבעת אלפים מדה ושערים שלשה שער שמעון אחד שער יששכר אחד שער זבולן אחד׃
34 Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.
פאת ימה חמש מאות וארבעת אלפים שעריהם שלשה שער גד אחד שער אשר אחד שער נפתלי אחד׃
35 “Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu. “N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘Mukama Katonda ali omwo.’”
סביב שמנה עשר אלף ושם העיר מיום יהוה שמה׃

< Ezeekyeri 48 >